TOP

Gwe nalonda ekkubo yanziba ebintu

Added 27th July 2018

Gwe nalonda ekkubo yanziba ebintu

 Byaruhanga

Byaruhanga

OMUKAZI ggwe nalonda ekkubo kye yankola ndifa nkirojja. Nze Richard Byaruhanga 23, mbeera Kawempe. Twasisinkana n’omuwala ono mu kimu ku bifo ebisanyukirwaamu e Kawempe ne tusiimagana ku ntandikwa y’omwaka guno.

0.Omukazi yantengula omutima gwange kuba yali mubalagavu ate nga mukkakkamu ekyandowoozesa nti nfunye omuntu omutuufu agenda okunsanyusa obulamu bwange.

Yali abeera ne mikwano gye mu Kawempe ate nze nga mbeera mu Kiganda Zooni esangibwa e Kawempe. Waayitawo ennaku ntono nga twakalabagana ne musaba tubeere wamu naye mu bulamu obw’obufumbo kye yakkiriza.

Yaleeta ezimu ku ngoye ze ne tutandika okubeera ffenna mu maka gange. Mu kiseera ekyo omukwano gwaffe gwali mu ggiya nnene kuba yali tanjuza mu buli kimu.

Awaka namulekangawo ne ηηenda ku mirimu gyange ate ng’olumu ηηenda safaali ne malayo ennaku eziwerako, kyokka nga mulekera buli kimu ekyetaagisa omuli ne ssente enkalu. Ate ebiseera ebimu mbadde musindikira ku ‘mobile money’ n’asobola okukola ku byetaago by’awaka.

Teyalina mulimu gw’akola okuggyako okusiiba awaka. Kino kyampaliriza okumufunira omulimu asobole okubaako ky’akola n’okuyingiza ssente ate nga ndaba menyeka nnyo mu byenfuna.

Omulimu gwe namufunira gwali gwa misana era ng’annyuka obudde bukyali. Naye mukazi wange bwe yatandika okukola embeera ze zakyuka nga takyampulira , awaka ng’akomawo matumbi budde ate nga bwe mmunenyaako adda mu kuyomba na kunvuma.

Lumu nagenda safaali ne malayo wiiki bbiri nga buli kimu nkimuwadde wabula ηηenda okudda awaka nasanga ennyumba agitaddeko kkufulu ηηenda okumukubira essimu okumubuuza gyali bye yanziramu byayongera kunkanga. Yansaba nzireyo gye nali nagenda okukolera.

Yalaba nnemeddeko kwe kukantema nga bwe yali yafumbirwa omusajja omulala era ewange yali yavaayo dda. Natuukiririra nnannyini nnyumba okubaako bye mubuuza naye nankakasa ng’omukazi bwe yali yamutegeeza nga bwe twali tusenguse okuva mu nnyumba.

Tugenda okuggulawo oluggi ng’ennyumba yonna nkalu. Nanoonya eky’okukola ne kimbula, twagezaako okumukubira essimu nga ndi ne bakadde bangen’ansaba mwesonyiwe. Yalaba mukubira essimu olutatadde n’agiggyako nakyusa ennamba era saddayo kumuwuliza.

Nagezaako okumunoonya gye yali abeera nga mikwano gye giηηamba kimu nti tegimulinaako kakwate kuba baamusanga ku kkubo ng’ewaabwe tebamanyiiyo, ebyembi nange ewaabwe nnali simanyiiyo era nga sirina we ntandikira. Okumanya yanziza emabega, eyali yeepangisiriza naddayo mu bakadde bange kati gye mbeera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...

Abantu be bakyaye abasinga beeteekako omusango ne badda mu kweraliikirira bwe banaaba.

Amenyese mu nsonga z'omukwa...

ABAVUBUKA bangi bafuna abaagalwa nga balina ebintu eby’enjawulo bye basuubira okufuna. Oluusi beesanga ng’ebintu...

Ronnah Naturinda ng’asomesa abaami.

Abaami temusirika nga bakya...

  Nnaalongo Ruth Muguta akola mu minisitule y'ekikula ky'abantu bwe yabadde ayogerako mu lukiiko lw'abaami abeegatira...