TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ab'e Kisoro baleetedde Kayihura eby'okulya: Bakukkulumidde Gav't

Ab'e Kisoro baleetedde Kayihura eby'okulya: Bakukkulumidde Gav't

Added 28th July 2018

ABATUUZE okuva mu disitulikiti y'e Kisoro, eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura gy'azaalwa enkya ya leero bakyaddeko mu makaage e Muyenga oluvannyuma lw'ennaku 46 ng'atemeza mabega wa mitayimbwa mu kkomera e Makindye.

 Abatuuze nga basitula ebirabo bye baaleetedde famire ya Kayihura e Munyonyo. EBIFAANANYI BYA PONSIANO NSIMBI

Abatuuze nga basitula ebirabo bye baaleetedde famire ya Kayihura e Munyonyo. EBIFAANANYI BYA PONSIANO NSIMBI

Bano abaabadde bakulembeddwamu Rogers Aguma eyakazibwako erya 'Anti Virus' beetikkidde famire ya Kayihura ebyokulya okubadde: amatooke, enkoko, ensujju ne sooda.

Okwolekera amaka ga Kayihura basimbudde ku Muyenga Internmational Hotel we balese kosita mwe batambulidde okuva e Kisolo era we batuuse ku ggeeti baziddwa abasirikale bamagye abakumawo ne bayingira wabula nga teri n'omu akiriziddwa kuyingira na ssimu.

Abawala nga basitudde ebirabo

Bano oluvudeyo bategezezza nga bwe basinkanya mukyala Kayihura nabategeeza nga bwagenda okutuusa obubuka ku bba.

Aguma agambye nti singa olwa Agust 13 lutuka nga kayihura tannatwalibwa mu kkooti oba nga tannayimbulwa bagenda kutandika okwekalakaasa okweddembe okulaga obutali bumativu olw'omuntu waabwe obutawulirizibwa.

Ayongedeko nti mu kalulu Pulezidenti Museveni azze awangula ebitundu 99 ku 100 wabula kati ne we bategeka akalulu tebayinza kumulonda olwobulumi bw'atusizza ku muntu waabwe.

Ku bano kubaddeko n'abayizi Kayihura b'aweerera abali ku yunivasite ez'enjawulo abagambye nti tebamanyi kiddako oluvanyuma lwa Kayihura okukwatibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...