TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti ewadde Gav't nsalesale ku bayinvesita abakola obutembeeyi

Palamenti ewadde Gav't nsalesale ku bayinvesita abakola obutembeeyi

Added 29th July 2018

PALAMENTI ewadde gavumenti nsalessale wa myezi mukaaga okussaawo amateeka amalambulukufu ku mirimu egitalina kukolebwa bagwiira bajja mu Uganda gisobole okulekerwa bannansi beefunire eky’okulya mu kifo ky’abeefuula ba ‘yinvesita’ okugibatwalako.

 Sipiika Rebecca Kadaga

Sipiika Rebecca Kadaga

PALAMENTI ewadde  gavumenti nsalessale wa myezi mukaaga  okussaawo amateeka amalambulukufu ku mirimu egitalina kukolebwa bagwiira bajja mu Uganda gisobole okulekerwa bannansi beefunire eky’okulya mu kifo ky’abeefuula ba ‘yinvesita’ okugibatwalako.             

Waludde nga waliwo okwemulugunya nti abagwiira bangi bayiika mu Uganda nga beefudde ba ‘yinvesita’ kyokka bwe batuuka muno ne batandika okukola obulimu obutagya mu bye bajja kukola egyandikoleddwa bannansi ng’obutembeeyi n’emirala.             

Bino biri lipooti y’akakiiko ka palamenti akawa abantu omukisa okuyisibwa ekyenkanya ‘committee on equal opportunities’  akakubirizibwa omubaka Mohammad Nsereko (Kampala Central) ekwata ku bagwiira abayiika muno ne bakola emirimu egyandikoleddwa Bannayuganda ng’okutembeeya n’ebirala.             

Ababaka bagamba nti wadde amateeka gagaana ‘yinvesita’ okufuna ettaka mu Uganda okwenyigira mu kulima n’okulunda kyokka gamukiriza okukola bizinensi endala. Kino kiri bwe kiti kuba obukadde 400 ezibasabwa ng’omusingo nga bajja wano amateeka gabakiriza ate okuzeeyambisa mu kusuubula nga baleeta muno ebyamaguzi okuva ebweru.             

Ababaka bagamba nti ensimbi ezo ntono nnyo era zeetaaga okwongezebwa olwo abagwiira abajja wano babe nga ‘babinojjo’ abatazze kwenyigira mu kusuubula kwa kuleeta muno byamaguzi kwokka wabula nga beenyigira mu kutandika wano makkolero ne bizinensi ennenne. 

Ababaka baagala amateeka agakwata ku bayingira  n’okufuluma muno wamu n’agalambika ebisanizo by’abagwiira abajja wano galambikibwe bulungi n’okulaga emirimu egirina okukolebwa Bannayuganda ng’abagwiira tebagikwatako. 

Baagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku bayingira mu ggwanga ekya  ‘Directorate of Citizenship and Immigration Control’ kyongerwe ssente kisobole okukola obulungi emirimu gyakyo.

Bagamba nti ekitongole ekirondoola ababadde bayingidde mu ggwanga kiwebwa ssente ntono (obukadde 250) mu bajeti nga zino ntono zeetaaga kweyongerako.             

Bagamba nti amakkampuni amanene agatandika wano bizinensi naddala agazimba galina okussibwako amateeka okulaba nga Bannayuganda bagaganyirwamu  nga bawebwa emirimu mu kifo ky’emirimu egising egy’ekikugu okuwebwa abagwiira abajja n’amakkampuni gano.             

Ababaka baagala etteeka erigaba layinsi z’ebyobusuubuzi ‘Licencing Act’ nalyo likyusibwe lisobola okutangira abagwiira abagala okwenyigira mu by’obusuubuzi obutamala gayingirira buli mulimu. Era baagala n’etteeka erisaawo omusaala ogulina okutandikirwako okusasula omukozi lissibwewo. 

Era baagala n’etteeka ly’obupangisa likyusibwe , ng’omugwiira ayagala okupangisa wano alina okuwebwa ekizimbe ng’amaze kulaga pamiti emukiriza okukolera wano emirimu era ng’egyo gy’alina okukola sso ssi kulandukira ku mirala Bannayuganda gye basobola. 

Ababaka bagamba nti ‘abagwiira’ abasinga abajja mu Uganda basaba pamiti za kukola mirimu mitonotono ne Bannayuganda gye basobola okukola. Baagambye nti omuwendo gw’abagwiira abali mu Uganda tegumanyiddwa bulungi kuba waliwo abayingira mu ngeri emenya amateeka.             

Ababaka era beemulugunya nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola abagwiira ababa bayingidde mu Uganda tekirina bakozi bamala kutuukiriza mirimu gyakyo.Beemulugunya nti tewali mateeka gamala kutangira Bannayuganda kumalibwa ‘mirimu’ gye basobola kufunamu ssente egitwalibwa abagwiira. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...