TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abachina babawadde kontulakiti y'okussa kamera ku nguudo

Abachina babawadde kontulakiti y'okussa kamera ku nguudo

Added 1st August 2018

ABACHINA be baweereddwa pulojekiti y’okussa ku nguudo kamera eziyigga abamenyi b’amateeka era omulimu gugenda kuwementa obukadde bwa ddoola za Amerika obusoba mu 120 (eza Uganda obuwumbi 481).

 Xi Jinping ne Mukyala we nga basisinkanye Pulezidenti Museveni ne mukyala we, Janet Museveni

Xi Jinping ne Mukyala we nga basisinkanye Pulezidenti Museveni ne mukyala we, Janet Museveni

Mu ngeri y’emu gavumenti ewadde kkampuni z’Abachina kontulakiti z’okukola emirimu egitali gimu naddala enguudo eziweramu obuwumbi bwa ddoola za Amerika bubiri n’ekitundu (zibalirirwamu eza Uganda obutabalika mwenda). 

Bino pulezidenti Museveni yabitegeezezza mukulu munne ow’e China, Xi Jinping, gwe yasisinkanye gye buvuddeko e South Africa, okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku mawulire ga gavumenti Media Centre. 

Ku by’okwerinda, Pulezidenti yagambye nti waliwo enteseganya n’Abachina okuzimba ebifo by’okwerinda. 

Yebazizza China olw’okuyamba okuzimba amabibiro g’amasanyalaze e Karuma ne Isimba aganatera okuggwa.

Kkampuni y’Abachina eya China Harbours Engineering Company (CHEC) y’agenda okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka olupya olw’omulembe. Era ng’ensimbi zigenda kwewolwa mu bbanka y’Abachina eya EXIM bank. 

Museveni yagambye nti waliwo entegeka z’okuzimba enguudo okuli: Masindi-Tangi-Paraa-Bulisa road; Hoima-Butiaba-Wanseko road; Buhimba-Buramagi-Kakumiro, Hoima-Butiaba-Wanseko, Hoima-Butiaba-Wanseko ; Buhimba-Buramagi-Kakumiro ,  Lusarira-Nkonge-Lumegere-Ssembabule; Masindi-Bisso-Kabaale-Kizirafumbi road; Hohwa-Nairongo-Kyaruseha road and Kabwoya-Buhuka and Ntoroko –Karugutu ziyambe mu by’okusima amafuta era nga waliwo enteseganya n’amakkampuni g’Abachina okukola ku zimu ku zo. 

Yagambye nti waliwo kkampuni z’Abachina okuli eya  'Guanzhou DongSong Energy Group, egenda okuzimba ekkolero ly’ebijimusa . Era yasabye gavumenti ya China okuwola eya Uganda okuymba bannamakolero okugula ebyuma e China biyambe mu kutumbula ebikolebwa mu Uganda. 

Era waliwo okusaba kw’ensimbi eziwera ddoola za Amerika 182 okussa amasanyalaze mu bibangirizi by’amakkolero e Kapeeka, Sukuru ne Mbale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...