TOP

Entiisa!! Ssemaka bamusse mukyala we alaba

Added 2nd August 2018

SSEMAKA bamuyingiridde mu kiro ne bamutemaatema nga mukyala we alaba. Bamulanze kumusaba ssente n’agaana.

 Omugenzi Kasiita. Ku kkono, Mukyala wa Kasiita ng’ali n’omwana.

Omugenzi Kasiita. Ku kkono, Mukyala wa Kasiita ng’ali n’omwana.

Ekikangabwa kino kyabuutikidde abatuuze b’e Bongole ekisangibwa mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo, abazigu bwe baayingiridde amaka ga Ahmed Kasiita omusuubuzi w’ebikadde e Zzana bwe baamusanze mu nju nga yeebase.

Ettemu lino, mukyala we, Gladys Nabukeera, eyabuuse ku kitanda ng’abatemu batuuse alyogerako bwati: Baze yatuuse awaka ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ne mujjulira ekyeggulo nga bulijjo.

Olwamaze okulya twanyumizzaamu katono ne twebaka, wabula ku ssaawa 9:00 ez’ekiro mulamu wange Abudul Mugumbya gwe tusula naye mu nnyumba yagguddewo oluggi okugenda mu kaabuyonjo era abatemu bano we baafunidde omwaganya okuyingira.

Nga wayiseewo eddakiika nga 10 nawulidde abantu abalala abaabadde boogera empola nga bayingira mu nnyumba.

Nayise baze Kasiita nti ababbi batuzinze, wabula nabadde sinnakiggya mu kamwa nga nabo bagguse. baabadde bambadde ebikooti nga bonna beebisse obukookolo ku maaso kyokka ng’omu alina ejjambiya.

Baatulagidde okwebikka emitwe era baze eyabadde asooka ku kitanda ne batandika okumutema nga ndaba.

Nakubye enduulu ng’eno bwe mbeegayirira okumusaasira wabula olw’obukambwe bwe baabaddeko baagenze mu maaso na kutema.

Baamutemye mu mutwe ejjambiya eziwera , olw’obulumi bwe yabaddeko yasituse n’abambalira kyokka olw’okubanga mu nnyumba nabadde nsigaddemu nzekka nga mulamu ali wabweru, natidde ne sisobola kubayingiramu okuggyako okukuba enduulu.

Baagenze mu maaso n’okumutema okutuusa amaanyi lwe gaamuweddemu n’agwa wansi, kyokka olw’ebisago bye yabadde afunye, omusaayi gwamuvuddemu mungi, era abantu we baatuukidde okunnyambako, ng’amaanyi gamuwedde takyavaamu kigambo kyonna.

ABDUL MUGUMBY A MUTO W’OMUGEZI ANNYONNYOLA

Mugumbya yategeezezza nga naye bwe yawonedde awatono okuttibwa abatuuze abazze okudduukirira enduulu, oluvannyuma lw’okumugwako ekiyiifuyiifu nga bamuteebereza okubeera omubbi.

Yakanze kubeegayirira nga naye bwe yabadde mu maka abatemu ge baabadde balumbye nga tebawulira era abamu ku baabadde bamukuba kwe kwabadde eyabadde amumanyi eyasabye abatuuze ne balyoka bamuleka.

“Ssinga tekyabadde kisa kya Allah kuleetawo muntu yabadde ammanyi nange naalibadde mbuyaga ezikaza engoye. kubanga obukambwe abatuuze bwe baakozesezza nga bankuba bwabadde tebundekera bulamu,” Mugumbya bwe yategeezezza.

Omugenzi baamusoosezzaako ku kalwaliro k’oku kyalo wabula abasawo ne bamugaana ne bamwogerayo e Kiruddu nayo gye baamugobye kyokka mu kumutuusa e Nsambya abasawo ne bazuula nti yabadde amaze okufa.

Abatemu baagenze n’amasimu asatu ge babbye mu maka g’omugenzi abatuuze ge baasabye poliisi okugoberera okusobola okubakwata. Omugenzi alese abakyala basatu n’abaana abawerako nga waakuziikibwa ku kyalo Kiteredde mu ggombolola y’e Kifamba mu disitulikiti y’e Rakai.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...