TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omuyindi alumirizza Nzeyi okwezza ettaka lye e Ttemangalo

Omuyindi alumirizza Nzeyi okwezza ettaka lye e Ttemangalo

Added 2nd August 2018

EMIVUYO gy’ettaka ly’e Ttemangalo gittukidde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka.

 Bya Nazir mu kakiiko.

Bya Nazir mu kakiiko.

Omuyindi akwataganye ne famire ya Daniel Kato Mugwanya abaali bannannyini kyapa ne batwala Amos Nzeyi ew’Omulamuzi Catherine Bamugemereire.

Ettaka lino eriweza yiika 366, liri ku bulooka 296 poloti 20 e Ttemangalo mu Busiro.

Omuyindi Nazir Moosa 66, eggulo yabadde mu kakiiko n’akategeeza nti yatwala Nzeyi mu kkooti kyokka munnamateeka gwe yali akozesa Peter Mulira yaguggyamu enta nga tamutegeezezza bw’atyo n’amuleka mu bbanga.

Moosa yannyonnyodde nti ettaka lino lyali lya kkampuni ya Ttemangalo Tea Estates Ltd. Kkampuni yali ya kitaawe Muhammed Hassanari Moosa ne nnyina Sherbanu Hassanari.

Baalirinako liizi ya myaka 79 ng’eggwaako 1993. Baava mu Uganda mu 1972 ne bagenda e Canada. Kitaawe yafa mu 1997 kyokka nnyina gy’ali e Canada aweza emyaka 92.

Liizi baagifuna okuva ku famire ya Mugwanya, Nazir bwe yakomawo mu 1993 yasanga ettaka liri mu mikono gya Nzeyi ng’alikolerako.

Yagambye nti bwe yawulira nga Nzeyi w’amaanyi mu ggwanga, kwe kuddukira mu kkooti ebasalirewo.

Ensonga yazikwasa Mulira ye n’adda e Canada. Kyamwewuunyisa ate Mulira okuggya enta mu musango n’atamutegeeza, kkampuni ya Mulira ne yeegatta ku ya Ssebalu Lule & Co. Advocates eyali ewolereza Nzeyi.

Ensonga yazitwala mu kakiiko akakola ku nsonga z’ebintu ebyali eby’Abayindi aka Departed Asians Custodians Board.

Etteeka liragira nti minisita w’ebyensimbi alina okuwa Omuyindi gwe baddizza ebintu bye satifikeeti ekakasa era Nazir agirina.

Bwe yaleese ebbaluwa ya minisita ng’emutegeeza nti ettaka lino lyali telibalirwa ku bintu akakaiiko kano bye kavunaanyizibwako.

Liizi bwe yaggwaako, ettaka lyalina okudda mu mikono gya famire ya Mugwanya kyokka nabo nga bakulemberwa Alice Mugwanya, bazze ne Nazir mu kakiiko kubanga ettaka teryabaddira.

Bagamba nti Abas Mawanda eyaliguza Nzeyi tebamumanyi mu famire yaabwe. Omulamuzi yabalagidde babaggyeko sitetimenti era ne Nzeyi ayitiddwa mu kakiiko annyonnyole.

Ettaka eririko enkaayana, Nzeyi yaliguza ekitongole ekitereka ssente z’abakozi ez’obukadde (NSSF).

Ensonga zaalanda ne batuuka n’okumuyita mu palamenti abinnyonnyole era endagaano ze baalina nga ziraga nti NSSF yasasula Nzeyi 8,700,000,000/- .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo