TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Kayihura okusisinkana Museveni boogere bikyakalubye: Aba famire e Muyenga bakuumwa ba mmundu

Ebya Kayihura okusisinkana Museveni boogere bikyakalubye: Aba famire e Muyenga bakuumwa ba mmundu

Added 2nd August 2018

Omu ku baasisinkanye Angella Kayihura era ng’ono ofiisa wa poliisi yatutegeezezza nti mu bye baayogedde baatuuse ne ku kaweefube abadde akolebwa okusisinkana Pulezidenti Museveni bamulaajanire addiremu Kayihura, wabula kaweefube ono nti tannavaamu bibala.

 Amagye tegakkiriza muntu kusukka wano okukkirira ewa Kayihura.

Amagye tegakkiriza muntu kusukka wano okukkirira ewa Kayihura.

Mu kusooka baalowooza nti kijja kubeera kyangu nti era Kayihura yennyini yakisaba amagye era ne bamutegeeza nti, “bajja kutegeeza omukulu” (Pulezidenti) wabula bwe yayingira wiiki eyookubiri ng’ali mu kkomera ly’amagye e Makindye n’amanya nti birabika bikalubye.

Ofiisa ono yatutegeezezza nti mu nsisinkano eno we yakitegeeredde nti Angella naye abadde akola kaweefube asisinkana Pulezidenti amuyitiremu okulaajana kwa bba,wabula enfunda ebbiri ze yaakagezaako okumulaba, abadde tafuna mukisa. Kaweefube baamuyingizaamu ne baminisita ba gavumenti basatu nti kyokka nabo tebannavaayo na kirambulukufu.

Bannamagye abawerako abali ku ddaala erya Genero ababadde bakyalira Kayihura mu kkomera nti abasinga abadde abatikka obubaka babutuuse ewa Pulezidenti era nga ky’asinga okubasaba kwe kumuyamba amuwe omukisa ogumusisinkana “amubuulire ebituufu” ku bigambo ebingi Kayihura by’agamba nti bya bulimba bye bamuteekako.

Wabula ne Bagenero abo nabo tebazza bubaka bulaga nti biyiseemu oba bigaanye! Bonna babakuumira ku bigambo ebibagumya nti, “Mugira mulindako….” ate abalala ne babagamba nti, “Omukulu tetunnamukwasa, akyalina emirimu mingi….” n’ebirala.

Eky’okumutwala mu kkooti nakyo aba famire bagamba nti kiyinza okujja mu maaso eyo kubanga enfunda zonna ze basisinkanya boofiisa b’amagye abaamukwata, tebalaga ntegeka ya mangu yonna ya kumutwala mu kkooti.

Kyokka omu ku mikwano gya Kayihura yategeezezza nti n’omusibe yennyini eky’okumutwala mu kkooti naye takyagala kubanga akiraba ng’ekigenda okwongera okumuweebuula ate ng’alina n’obweraliikirivu ku misango ki gye bayinza okumuggulako.

Okuva Kayihura lwe yakwatibwa nga June 13, bannamawulire tebafunanga mwagaanya gufuna bifaananyi bye mu busibe era kino kye kimu ku bimweraliikiriza ku kutwalibwa mu kkooti kubanga akiraba ng’ekissaawo embeera y’abamuyeeya okujaganya ng’atuusiddwa mu kkooti.

Ekirala, ng’eyali omuduumizi wa poliisi eyagenda ne mu Palamenti ng’ayagala eyise etteeka eryongera poliisi obudde zive ku ssaawa 48 omuntu z’atalina kusussa ng’ali mu kaduukulu bongerwe obudde okutwala abantu mu kkooti, tayagala kulabika ng’alaajana nga yeesigama ku kintu kye yali ayagala kiveewo.

Nti era ku kino kwe yasinziira okuwa ekiragiro okuyimiriza mbagirawo bannamateeka okuli Caleb Alaka ne Evans Ochieng kubanga baali bakutte ekkubo lya kusabwa atwalibwe mu kkooti nga bagamba nti eky’okumusiba ebbanga eddene nga tatwalibwa mu kkooti kikyamu.

Bannamateeka ba Kampala Associated Advocates be yakwasa omulimu baategeeza nti eky’okusaba omuntu waabwe atwalibwe mu kkooti tebannakirowoozaako.

EMBEERA MU MAKA GA KAYIHURA

Rogers Ishimwe omu ku bayizi ababadde baweererwa Kayihura yagambye nti embeera gye baasanze mu maka ga Kayihura ekwasa ennaku kubanga n’aba famire ye bakumibwa ekiteetaagisa.

Mu kuyingira nti baabaggyeeko n’amasimu gonna ekyayongedde okubennyamiza.

Yagasseeko nti: Mukyala wa Kayihura essanyu lyamugwa ku maaso era n’okwogera kwe kutono nnyo.

Vallince Ngirabokunzi yagambye nti balinze lwa August 13, 2018 lutuuke nga Kayihura tayimbuddwa oba okumutwala mu kkooti, batandike okwekalakaasa kwabwe okweddembe okwetooloola eggwanga lyonna.

Ku lunaku olwo, Kayihura lw’aweza emyezi ebiri ng’ali mu kkomera, wabula omwogezi w’amagye Brig. Richard Karemire yabalabudde n’abawa amagezi obutagezaako kwegugunga kubanga kye bakola ng’amagye bakimanyi, bakikola mu bukugu bwabwe era teri ayinza kubapakusa okukolera ku kutiisatiisa kwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...