TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ziizino ensonga ssemasonga ezigobezza abanene mu FDC

Ziizino ensonga ssemasonga ezigobezza abanene mu FDC

Added 5th August 2018

Ziizino ensonga ssemasonga ezigobezza abanene mu FDC

 Abamu ku baagudde mu bifo

Abamu ku baagudde mu bifo

MU nkyukakyuka FDC ze yakoze ku bifo bya Palamenti, abantu bonna abaawagira Mugisha Muntu baabasudde ne bassaawo abaalwanirira ennyo Dr. Kizza Besigye era nga baawagira ne Patrick Oboi Amuriat ku bwapulezidenti bw’ekibiina.

Bonna abaasuuliddwa okuli Winnie Kiiza abadde akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Angelina Osege (ow’akakiiko ka PAC), Abdu Katuntu (ow’akakiiko ka COSASE), Anita Among, Reagan Okumu (ow’akakiiko ka LGAC) bonna baawagira Muntu ng’attunka ne Amuriat era bonna baabeeze.

Ibrahim Ssemujju Nganda ye mubaka yekka asimattuse ekiwendo kino, era kigambibwa nti ekyamuwonyezza kwe kusalawo amangu okwegatta ku nkambi ya Amuriat era abadde yeetaba mu nkiiko zonna Amuriat z’abadde atuuza.

Ekirala baamulabye nga ye mpagi ekibiina kwe kyesigamye mu kitundu kya Buganda nga bakyamwetaaga. Abawagira ennyo Besigye era nga baawagira ne Amuriat be bagudde mu bifo era kuno kuliko: Roland Kaginda, Nandala Mafabi, Francis Mwijukye, Mubarak Munyagwa, Kaps Fungaroo, Nzoghu William, Jack Wamai Wamanga, Gilbert Olanya ne Micheal Kabaziguruka bonna basajja ba Besigye ffa nfe!

Mu nkyukakyuka zino, awabadde Abdu Katuntu baataddewo Mubarak Munyagwa “Mugaati gwa Bbata” ng’amyukibwa Moses Kasibante owa Lubaga North. Mu baasuuliddwa abalala kuliko; Cecilia Ogwal abadde kaminsona ku lukiiko olufuzi olwa Palamenti, Gerald Karuhanga abadde amyuka Reagan Okumu ku kakiiko akanoonyereza ku ssente ezikozesebwa Gavumenti ez’ebitundu (LGAC).

LWAKI WINNIE KIIZA BAMUSUDDE Enkyukakyuka zino zaatwaliddemu ne Winnie Kiiza abadde akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti ne bamusikiza Betty Aol Ochan (mukazi Gulu). Kiiza yawagira nnyo Muntu mu kalulu k’omwaka oguwedde era bwe baamuwangula n’afunamu okutya.

Okukyusa Kiiza kwabadde kusuubirwa kubanga buli abadde awangula obwapulezidenti bwa FDC, abadde alonda omuntu gw’akkiririzaamu. Mugisha Muntu bwe yaweebwa ekifo ekyo mu 2012 yaggyawo Nandala Mafabi eyali alondeddwa mu kisanja kya Besigye n’amusikiza Wafula Oguttu.

Mu November w’omwaka oguwedde nga Amuriat amaze okuwangula, Kiiza yeetaba mu lukiiko olwayitibwa aba FDC era n’abategeeza nti, talina mutawaana na kumuggya ku kifo kino. Akalulu k’e Bugiri lyabadde kkonde erisembayo era n’abamu ku baabadde bawagira agira asigalawo okwewala okunyiiza abaawagira Muntu;

we baasaliddewo nti “ekimala, kimala”. Oluvannyuma lwa Asuman Basalirwa eyabadde awagirwa Bobi Wine okuwangula FDC ne NRM mu kalulu k’e Bugiri, aba FDC baatuuzizza olukiiko ku Lwokubiri lwa wiiki eno era ekimu ku byasinze okuvaayo y’engeri Winnie Kiiza gye yagaana okwetaba mu kunoonyeza owa FDC Eunice Namatende akalulu e Bugiri n’adda mu kutikiza ne Bobi Wine.

Ng’ebula ennaku bbiri kampeyini ziggwe, Winnie Kiiza yali asuubirwa e Bugiri, wabula kw’olwo yasalawo okwegatta ku Bobi Wine ng’agenda okweyanjula ku poliisi ya CPS ku misango gy’okuwakanya omusolo gwa 'Mobile Money' n’omusolo gwa Facebook, WhatsApp ne Twitter. Baakimutaddeko nti mu kifo ky’okukola ebizimba FDC, ali mu kuzimba bantu balala. Ekirala abadde teyeetaba mu nkiiko ezibeera ziyitiddwa Amuriat era abamu awo we baakimuteerako nti yandiba mu bakyewaggula.

Muky. Ochan 60, gwe baawadde ekifo muwagizi nnyo wa Besigye ate mwogezi mulungi era alina obumanyirivu kubanga abadde mu Palamenti okuva mu 2006 era ali mu kisanja kyakusatu. Bamulaba ng’asobola okugatta kubanga teyeenyigira mu ntalo era ayagala nnyo okutabaganya.

Kiiza y'abadde akulira oludda oluvuganya Gavt.

LWAKI BALEESE MUNYAGWA NE KASIBANTE Wadde enteesa ya Munyagwa ne Kasibante tebadde ya maanyi nnyo mu Palamenti, baabawadde ebifo ku kakiiko akalondoola ebitongole bya Gavumenti aka Committee on Commissions Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE).

Kasibante y’agenda okumyuka Munyagwa ku kakiiko kano. Katuntu abadde ssentebe w’akakiiko n’omumyuka we Among babadde boogerwako ng’abatakwatagana bulungi na bukulembeze bwa Amuriat.

Bonna mu kamyufu akawedde baagaana okuwagira Besigye okukwata bendera y’ekibiina okuvuganya ku bwapulezidenti mu 2016 era ne bakimwatulira. Among yamala eggobe mu kibya bwe yasalawo okulonda ng’awagira baggyewo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti era ne batandika okumwekengera. Abamu baakimuteekako nti y’atwala abooludda oluvuganya Gavumenti ababa baagala okusisinkana Pulezidenti okumuyitiramu ebifa mu bitundu bye bakiikirira. 

Bangi ku baasuuliddwa, babadde bakibassaako nti, tebabeekakasa ku nkolagana yaabwe ne Gavumenti. Kasibante ne Munyagwa bawagizi ba Besigye era baayimirira ne Amuriat mu kalulu mwe yameggera Maj. Gen. Muntu.

Mu kalulu ako, Munyagwa yali mu lwokaano kyokka yawanduka ku ssaawa envannyuma n’asalawo awagire Amuriat. Kigambibwa nti yasooka kussaawo kakwakkulizo ka kuweebwa kifo singa Amuriat aba ayiseemu era okumuwa ekifo kino kwalabiddwa ng’okumusasula.

Kasibante okufaananako ne Betty Nambooze wadde ba DP naye babadde bawagizi ba Besigye ebbanga lyonna era okubawa ebifo kwatunuuliddwa ng’okubasiima olw’obuwagizi obwo.

FDC era yabadde yeetaaga n’okufunayo abantu okuva mu DP kyokka ng’erina okulonda abo abatakwatagana na bukulembeze bwa Nobert Mao bwe batalima kambugu. Eno y’ensonga lwaki abantu nga Medard Lubega Sseggona, Muwanga Kivumbi ne Joseph Ssewungu tebaalowoozeddwaako.

Kivumbi, Sseggona ne Ssewungu baabadde ku mwanjo mu kalulu k’e Bugiri gye beegattidde ku Basalirwa okumegga FDC.

ulezidenti wa FDC Amuriat era eyakoze enkyukakyuka.

ENKYUKAKYUKA ZA FDC ZIFAANANYE EZA NRM FDC okulangirira ttiimu empya kyazze nga waakayita wiiki emu nga NRM erangiridde abaayo mwe yasuulidde abo bonna abaawakanya okuggyawo ekkomo ku myaka.

Okufaananako ne NRM eyasuula abantu abaali balabwa ng’abalina obusobozi obw’enjawulo n’obumanyirivu ne babasikiza abatannakakata, ne FDC yasudde abantu abalina obusobozi obw’enjawulo ne babasikiza abatalina bumanyirivu; ng’abakulembeze mu bibiina byombi batunuulira ekintu kimu buwulize eri abakulembeze b’ekibiina.

Wabula Amuriat yagambye nti enkyukakyuka ze baakoze zaabulijjo era zaagendereddwaamu okwongera amaanyi mu ludda oluvuganya Gavumenti, n’awakanya abagamba nti yagenderedde kusuula abo bonna abataamuwagira era abatalinnya mu kimu na Besigye.

Kyokka Alice Alaso eyaliko ssaabawandiisi wa FDC yagambye nti, kiba kikyamu okusuula abantu abalina obusobozi olw’engeri gye baalondamu. Yagambye nti aba kuba nga y’ali mu kifo Amuriat ky’alimu, Kiiza yandibadde amuleka n’amalako ekisanja kino kubanga aweerezza bulungi era obusobozi bw’alaze tebubuusibwabuusibwa.

ENKYUKAKYUKA MU BUJJUVU 1 Akulira oludda oluvuganya - Betty Aol Ochan 2 Nampala w’oludda oluvuganya - Semujju Nganda 3 Omumyuka wa Nampala – Tonny Muhindo 4 Kaminsona - Francis Mwijukye. 5 Inter Parliamentary Union (IPU) - Roland Kaginda 6 Akiikirira oludda oluvuganya mu Palamenti y’amawanga agaafugibwako Bungereza – Betty Nambooze 7 Palamenti ya Afrika - Nzoghu William 8 Jack Wamai BASSENTEBE N'ABAMYUKA Nandala Mafaabi ne PP Okin Franka Akello ne Gilbert Olanya Munyagwa Mubarak ne Kasibante Moses Kaps Hassan Fungaroo ne Michael Kabaziguruka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...