TOP

Poliisi ekyusizza ekiragiro kyayo ku Nambooza

Added 5th August 2018

Poliisi ekyusizza ekiragiro kyayo ku Nambooza

 Nambooze Bakireke

Nambooze Bakireke

JJAJJA w’Obusiraamu mu ggwanga Omulangira Kassim Nakibinge akubirizza Abasiraamu abaagenze e Mecca okusabira Obusiraamu bwonna mu ggwanga buggweemu enjawukana n’okusika omuguwa.

Omulangira okwogera bino yabadde ku Muzikiti gw'e Wandegera gye yagenze okusiibula ekibinja ky’Abasiraamu 800 abasitula olwaleero ku Ssande okwolekera Mecca okulamaga. “Mu Uganda buli muntu ali ku bunkenke olw’ebyokwerinda ebiyuuga, ebyenfuna ebikalubye n’obwavu obuyitiridde mu bantu.

Bwe muba mutuuse e Mecca musabire obutakkaanya obuli mu Busiraamu busobole okuggwaawo kuba tusobola okutuula ne tugonjoola obutakkaanya obwo ne tufuuka omuntu omu ng’Obusiraamu bwe bulagira.

Olugendo lwe mugenzeemu lulimu eby’emizizo n’ebitali bya mizizo mulimu bye mutekeeddwa okukola ne bye mutalina kukola, kale mufube okugondera abakulembeze abagenda okubaluhhamya mu buli kimu bwe muba mwagala okutuukiriza ebigendererwa ebibatutte mu bujjuvu bwabyo", bwe yabakuutidde.

Yabalabudde okwewala okwetikka emigugu egitali gyabwe kuba abantu abasinga bagenda e Mecca n’ebigendererwa eby'enjawulo oluusi ebitali mu mateeka. Omulangira era yabasabye okwewala ebikolwa ebikyamu nga bakomyewo okuva okulamaga olwo Hijja yaabwe etuuke bulungi ewa Allah.

Guno gwe mulundi ogwe 14 ng’Omulangira Nakibinge asiibula Abasiraamu okugenda e Mecca. Supreme Mufti Sheik Sulaiman Kasule Ndirangwa yabagambye nti olugendo lwe bagenzeemu teruliimu kusaaga n’akatono bwe baba nga baagala okutuukiriza ebigendererwa ebibatutte balina kuba bagonvu era nga bawuliriza abakulembeze abagenda okubaluhhamya mu bye bakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...