TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC okukyukyusa ab'oludda oluvuganya yeekengedde Mugisha Muntu

FDC okukyukyusa ab'oludda oluvuganya yeekengedde Mugisha Muntu

Added 6th August 2018

EBIPYA bizuuse nga biraga nti Pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat Oboi okukola enkyukakyuuka mu bukulembeze bw’ababaka ab’oludda oluvuganya mu Palamenti yagenderedde kutemera ttaka ku Maj. Gen. Mugisha Muntu okwelulira Dr. Kiiza Besigye ekkubo nga bombi babbinkanira tikiti y’ekibiina mu kalulu k’Obwapulezidenti aka 2021.

 Muntu (ku ddyo) ng’abuuza ku bannakibiina mu kulonda kwa pulezidenti bw’ekibiina. Amuriat (atudde wansi) yawangula.

Muntu (ku ddyo) ng’abuuza ku bannakibiina mu kulonda kwa pulezidenti bw’ekibiina. Amuriat (atudde wansi) yawangula.

Obubonero obuliwo bulaga nti Besigye ateekateeka okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2021 ku tikiti ya FDC kyokka gw’asinga okweraliikirira ye Muntu atambuza enjiri egamba nti emirundi ena (4) Besigye gye yaakeesimbawo n’agwa, takyalina kipya kye kiseera okuleeta omuntu omulala n’obukodyo obupya okusiguukulula Museveni.

Okuva mu November 2017, Amuriat lwe yamegga Muntu mu kalulu ak’Obwapulezidenti wa FDC, enkambi y’abawagizi ba Besigye abaamuwagira mu kampeyini ze bazze bamussaako akazito okugoba buli muwagizi wa Gen. Muntu ali mu bukulembeze nga babalumiriza okubeera ‘ebipingamiizi’.

Ababaka ba FDC abaawagira Muntu, babadde n’ebifo ebyobukulembeze mu palamenti bye yabalonderamu (Muntu) mu 2016 era bano Amuriat be yakutte ku nkoona ng’oggyeeko Ibrahim Semujju gw’ataagobye mu nkyuukakyuuka ze yalangiridde mu Lwokutaano.

Ebifo eby’obukulembeze ababaka bye babadde balina biggyirako obuyinza, ebitiibwa n’ensimbi era abawagizi ba Besigye bamaze ebbanga nga bapeeka Amuriat abagobe nga balumiriza nti ababaka abo beeyambisa ssente ze bafuna olw’obukulu mu Palamenti okuwagira Muntu mu nteekateeka ez’okulwanyisa Besigye, Amuriat ne FDC.

Muntu mu kiseera kino ali mu kutambula eggwanga yeenyweza mu bawagizi ba FDC n’ab’oludda oluvuganya era kino kiruma Besigye nga babuuza nti Muntu atambula ng’ani kubanga Pulezidenti Amuriat tamanyi ku bya ntambula ze z’agenda akuba nga yeeyita owa FDC.

Aba FDC abagambibwa okubeera ‘Ebipingamiizi’, kigambibwa baawagira Gen. Muntu naddala mu by’ensimbi mu kampeyini ze ng’avuganya Amuriat.

Abdul Katuntu (Bugweri) omu ku baagobeddwa Amuriat yategeezezza nti ekyakoleddwa ssi nkyukakyuka wabula kw’abadde ‘kulwana ntalo’ n’agamba nti abantu Amuriat be yasindiikirizza be bamu ku batandisi ba FDC n’agamba nti abaagobeddwa bagenda kutuula basalewo ekiddako.

Abamu ku batandisi ba FDC abaggyiddwa mu bifo ng’oggyeeko Katuntu ye; Elijah Okupa, Ogenga Latigo, Okumu Reagan n’abalala era nga bano bonna baawagira Muntu mu kalulu k’Obwapulezidenti.

Omwogezi wa FDC Semujju Nganda bwe yabadde ku Pulogulaamu eya Capital Gang ku Lwomukaaga yagaanyi okwogera ku nkyukakyuuka ezaakoleddwa n’annyonnyola nti zimukwatako butereevu nga ye omwogezi w’ekibiina era atuula ne ku kakiiko akasalawo ensonga ez’enjawulo mu FDC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...