TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Winnie Kiiza gye yeekengedde Amuriat n'amutega obulippo

Engeri Winnie Kiiza gye yeekengedde Amuriat n'amutega obulippo

Added 6th August 2018

Ensonda ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi zaategeezezza nti Amuriat Oboi okukola enkyukakyuka yamaze kufuna bukakafu nti Muntu atuuse wala mu nteekateeka ez’okutandika ekibiina ekipya nga yeetegekera akalulu k’Obwapulezidenti mu 2021 era emmundu ye emmenya ebadde Winnie Kiiza.

 Winnie Kiiza

Winnie Kiiza

Kiiza abadde akulira oludda oluvuganya era ofiisi erina bajeti ya buwumbi mukaaga (6bn) buli mwaka ng’abenkambi ya Besigye balumiriza nti ssente ezitambuza ebintu bya muntu zonna ziva mu ofiisi ya Kiiza.

Ab’enkambi ya Besigye bagamba nti okuggya Kiiza mu ofiisi okugikwasa Betty Aol Ochan kigenda kuyambako okusala ku Muntu ssente z’abadde akozesa mu kutambula eggwanga.

Wabula ensonda mu Palamenti zaategeezezza nti Wiini Kiiza yali yamanya ku ky’okumuggya mu ofiisi n’akola nteekateeka ey’okulemesa omuntu yenna anaamuddira mu bigere okubaako ky’akyusakyusa mu by’ensimbi n’abakozi.

Ebimu bintu Kiiza bye yakola kwe kuddira abakozi ab’ofiisi y’akulira oludda oluvuganya nga bonna baali baalondebwa Muntu, okubafuula abakozi ba gavumenti ne baweebwa Kontulakiti za myaka etaano nga ziggwaako mu 2021.

Abamu ku bakozi abo ye; Meshach Nuwabine ng’ono y’avunaanyizibwa ku bajeti y’akulira oludda oluvuganya era ono Ochan tamulinaako buyinza.

Abakozi abalala ye Rajab Kaya Sema (akulira FDC mu Buganda), Salim Katumba (akulira abavubuka) ba FDC e Kawempe n’abalala era bonna bawagizi ba Muntu, kyokka Ochan tayinza kubakwatako kubanga balina kontulakiti okutuuka 2021.

Embeera eraga nti Amuriat ne ttiimu ye empya mu palamenti ekyali mu kattu kubanga ababaka ba FDC abasinga obungi bakyaali abawagizi ba Muntu era balina obusobozi okusibira obukulembeze bwe (Amuriat) ekikookolo naddala ku kya ssente eza buli mwezi ze basoloozebwako okugiwa emirimu egy’ekibiina nga bangi bagamba nti tebagenda kuddamu kuziwaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...