TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ateeze omukazi n'amussa ekiso mu bulago poliisi emukutte

Ateeze omukazi n'amussa ekiso mu bulago poliisi emukutte

Added 7th August 2018

Ateeze omukazi n'amussa ekiso mu bulago poliisi emukutte

Agambibwa okuteega omukazi n'ekiso ng'ali ku poliisi

Agambibwa okuteega omukazi n'ekiso ng'ali ku poliisi

Bya Madiinah Nalwanga

OMUVUBUKA ateeze omukazi , n'amuteeka ekyambe mu bulago n'amunyagako ssente eziwera 70,000 ne ssimu wamu n’engatto zaabaddemu.

Shafic Ssekanjakko 15 nga mutuuze w’eBweyogerere mu kireku zooni, yateeze Faridah Namutebi 28 abeera e Ntebettebe zooni bwabadde ava ku mulimu okukola ng’addayo ewuwe.

Namutebi  agamba nti Ssekanjakko yabadde ne banne babiri nga kuliko gwawulira gwebayita Richard , nga baamusanze Ntebettebe zooni, ne bamukwata ne bamuteeka ekyambe mu bulago ne bamusaba byonna byalina, kwekubawa essimu kika kya Nokia, engatto zeyabaddemu, ssaako emitwalo musanvu ezaabadde mu nsawo. 

Olwamaze okumuggyako essimu n’ebintu ebirala, ne bamukunguzza paka mu kiyumba ekitanaggwa e Ntebettebe ne bamukaka abawe pini namba y’a mobile money , nga bamunyize ku kisenge, ssaako okumutiisatiisa singa awoggana nti bagenda kumusalako ebbeere. Olwalabye nga ku layini ye tekuli ssente, nabamuwa layini ye ne bamugamba atambule nga tatunula mabega 

‘Naddukidde ewa ssentebe we Kitundu Farouk Mpanga Muniga n'ankwasa ow’ebyokwerinda Joshua Mugagga wamu nabakakiiko abalala, nebalawuna ekitundu kyonna , kwekugwa ku Ssekanjakko mu kifulukwa nebamukwata ng’akyali mungoye zeyabaddemu, nga nekyambe kye akyakirina.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...