TOP

Nambooze alaze amabwa agasimye

Added 9th August 2018

Nambooze alaze amabwa agasimye

 Nambooze ne bba Henry Bakireke

Nambooze ne bba Henry Bakireke

BETTY Nambooze Bakireke alaze amabwa ana agamuli obubi. Amabwa gonna gasimye. Alina ebbwa eddene mu mugongo, eddala liri ku vviivi. Amagulu gombi galina amabwa okumpi n’obukongovvule. Agamba nti ali mu bulumi. Okufuna otulo oba okusobola okuwummula basooka kumukuba mpiso ezikkakkanya obulumi.

Alina ekipiira ekyassiddwa mu kagaali k’atuulamu akabeera mu swiiki y’amasannyalaze ng’ekipiira kye kimuyamba okumyweza omugongo. Akagaali kassiddwaamu obuuma obukwata amagulu okuyambako okunyweza ebinywa oluvannyuma lw’okumulongoosa evviivi. Omusawo tamuva kumpi okumuyambako okumukuba empiso n’okumukyusa. Yayogedde ne Bukedde eggulo mu maka ge e Mukono.

Nambooze yakomyewo ku Lwomukaaga okuva e Buyindi gy’abadde ajjanjabirwa. Nambooze yategeezezza nti amabwa gava ku misuwa gye egiri ewala. Bwe bamukuba empiso okuyisaamu eddagala, buli mpiso weeyita nga watana.

Era alina okutya nti buli we baamukubye empiso wakyayinza okutana. Ebbanga ly’amaze nga mulwadde bamukubye empiso ezisoba mu 100 ate nga buli lunaku bamukuba empiso nnya buli lunaku okuva lwe yakomyewo.

Yagambye nti ekyongedde okumutiisa ge mateeka, abasawo ge bamutaddeko. “Sikkirizibwa kusitula kintu. Sikkirizibwa kutuula kiseera kiwanvu. Sisobola kutambula nga siyambiddwa. Sikkirizibwa kubeera wali bintu biwoggana. Mmotoka mwe ntambulira eteekwa okuvugibwa omuntu omwegendereza.

Emmere nnina kulya ntono nnyo”, bwe yagambye. Bino yabyogedde akankana emimiro. N’agamba nti simanyi kinaddirira kubanga waliwo ebintu bye sikyaddayo kukola mu bulamu bwange bwonna. Sigenda kuddamu kufukamirira kubanga evviivi baalirongoosezza ne bateekamu ekituli okuliyamba okweweta.

Omugongo nagwo gulimu ebyuma, bye nnina okubeera nabyo obulamu bwange bwonna. Sikyaddayo kweweta nnyo okugeza okusala enjala z’ebigere. Mu bufunze kati nfuuse mulema. Yagambye nti ali mu mbeera y’emu n’eyali omubaka wa Makindye East, Hussein Kyanjo eyassibwako baatule gy’ayogererako.

Era nnayogedde ne Kyanjo tutandikewo kaweefube w’okusomesa abantu naddala abooludda oluvuganya banguwe okwetangira obulwadde buno n’okwegatta okulwanirira obufuzi bw’amateeka mu Uganda. Kyokka wadde mulwadde, yeeyamye obutawummuza mulimu gwa kuweereza balonzi ba Mukono Munisipaali.

Ajja kubaweerereza awo ku ndiri. Ku ndiri kwe yasinzidde n’abaga ekiwandiiko eri Sipiika wa Palamenti ng’awakanya okugoba n’okutulugunya abalonzi be abaasenguddwa ku kifuba mu kibuga Mukono.

Abantu bange baafiiriddwa emmaali, obuduuka mwe bakolera bwasendeddwa, bonna bali mu maziga. N’agamba nti ekiwandiiko akitisse mubaka munne Moses Kasibante (Lubaga North) okukitwala ewa Sipiika.

Mu myezi esatu egijja, ajja kuddayo mu Buyindi baddemu okumukebera era tamanyi oba w’anaddirayo aliba ateredde. Nambooze abadde mu ddwaaliro lya Manipal Spine Hospital e Buyindi.

Ku ludda lw’ebyobufuzi musanyufu okulondebwa abooludda oluvuganya okukiikirira Uganda mu Palamenti y’amawanga agaali amatwale ga Bungereza. Yalondeddwa mu nkyukakyuka ezaakoleddwa aba FDC ng’ekibiina ekisinga ababaka booludda oluvuganya mu palamenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...