TOP

AMOS Nzei bamukunyizza mu kakiiko k'ettaka

Added 9th August 2018

AMOS Nzei bamukunyizza mu kakiiko k'ettaka

 Nzei (ku ddyo) ne Nazir Moosa nga boogeramu oluvannyuma lw’akakiiko.

Nzei (ku ddyo) ne Nazir Moosa nga boogeramu oluvannyuma lw’akakiiko.

AMOS Nzei ategeezezza akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka nti Abayindi abakaayanira ettaka ly’e Ttemangalo lye yaguza NSSF, bwe babeera baagala we bakolera bamutuukirire alina ly’asobola okubapangisa naye ne liri talisesema.

Yabadde mu maaso g’Omulamuzi Catherine Bamugemereire, ku Lwokusatu. Yagambye nti, yeewuunya okubeera nti okuva lwe yagula ettaka lino mu 1988 okutuusa mu 2005 tewali muntu yali alikaayanira kyokka bwe yamala okuliguza NSSF ne basitula enkundi.

Nzeyi okuyitibwa mu kakiiko, Abayindi aba Ttemangalo Tea Estates be baatutteyo okwemulugunya nga bakulemberwa Nazir Moosa eyategeezezza nti yiika 366 ku ttaka eriri ku bulooka 296 poloti 20, lyali lya Ttemangalo Tea Estates Ltd. Kkampuni yali ya kitaawe Muhammed Hassanari Moosa ne nnyina Sherbanu Hassanari.

Baalirinako liizi ya myaka 79 ng’eggwaako mu 1993 nga baali bagifunye okuva ku famire ya Daniel Kato Mugwanya. Baava mu Uganda mu 1972 nga Amin abagobye ne bagenda e Canada. Kitaawe yafa mu 1997 kyokka nnyina gy’ali e Canada aweza emyaka 92.

Nzeyi agamba nti, ettaka yaligula ku Abas Mawanda n’alifunako obwannannyini obw’enkomeredde kubanga ekyapa kya mayiro baalikyusa okulizza mu mannya ge. Wano Omulamuzi we yamubuulizza oba mu kuligula teyamanya nga kwaliko liizi nga tennaggwaako ye n’ayanukula nti yagula ttaka teyagula liizi era ebya liizi tabimanyi basaana kubibuuza Mawanda eyamuguza.

Yagambye nti, nga tannaba kugula, obuvunaanyizibwa yabukwasa Bannamateeka aba Sebalu & Lule Advocates kubanga yamanya nti bano baali basajja bakulu, Abaganda abamanyi obulungi ensonga z’ettaka bwe zitambula mu Uganda. Olwamaze okwogera ekyo, Omulamuzi n’aseka.

Bamugemereire yawadde Nzeyi amagezi yeebuuze ku Munnamateekawe Fred Muwema gwe yazze naye amulambululire ettaka kye ligamba ssinga omuntu agula ettaka nga libaddeko liizi etannaggwaako.

Nzeyi yannyonnyodde nti, Mawanda yali mukwano gwe ng’akolera Uganda Commercial Bank ate nga naye mwe yali atera okwewola ssente. Wabula akakiiko kaasigadde kakimuteekako nti olwamala okugula ettaka lino ne basalawo okutemaatemamu poloti ez’enjawulo okusobola okutta obujulizi nti lyaliko liizi.

Yiika 366 aba Ttemangalo Tea Estates lye bakaayanira ng’ogasseeko eddala NSSF lye yagula ku Nzeyi ne Amar Ltd eya Amama Mbabazi, NSSF yalisasula obuwumbi 11. Nzeyi yafuna 8,700,000,000/- ate Amar baagisasula 2,300,000,000/- Nzeyi yasoose kulaga obutali bumativu, olw’okubeera nti Moosa yategeeza akakiiko nti muntu munene nnyo mu ggwanga era muzibu nnyo okutuukirira.

Yagambye nti musajja mutono, emyaka 30 egiyise abadde azitowa kkiro 70 ne sayizi y’empale ayambala 34. Ye akimanyi nti muntu waabulijjo gwe bawawaabira ne mu kkooti era wano we yabuulizza nti olaba batwala Pulezidenti mu kkooti olwo ye Nzeyi y’ani.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...