TOP

Besigye awagidde okukyusa Winnie Kiiza

Added 10th August 2018

Besigye awagidde okukyusa Winnie Kiiza

 Besigye

Besigye

DR. Kiiza Besigye alabudde bammemba ba Palamenti abaggyiddwa mu bifo ne banyiiga ne batuuka ne ku ky’okutandikawo ekibiina ekirala nti, kino kikyamu kubanga ne gye banaagenda wagenda kubaayo okuvuganya nga bwe kiri mu byobufuzi wonna.

Yagambye nti abantu bano bwe baba basazeewo okuva mu FDC, eryo ddembe lyabwe kuba naye yatuuka ekiseera nga takyasobola kukolagana na Pulezidenti Museveni n’amuviira. Yabadde ayogera ku nkyukakyuka ezaakoleddwa omukulembeze wa FDC, Patrick Oboi Amuriat, mwe yakyusirizza omukulembeze w’oludda oluvuganya mu palamenti, Winnie Kiiza.

Yakiraze nti abantu tebasaanidde kuwakanya nkyukakyuka kubanga ne Pulezidenti Museveni azze azikola noolwekyo tewali tteeka likugira FDC kukola nkyukakyuka bw’eba ekirabye nga kyetaagisa era ye ng’omuntu yazisanyukidde.

Dr. Besigye yakiggumizza nti ekisinga obukulu ng’enkyukakyuka nga zino zikolebwa, kugoberera mateeka nti kyokka okusinziira ku kye yalabye, ebyakoleddwa byonna biri mu mateeka.

Wabula yagambye nti ekyamwewuunyisizza, okukubaganya ebirowoozo kwokka kwe kussibwa ku ye ng’omuntu atakyalina bukulembeze bwonna mu FDC . Yasoomoozezza abantu bonna abaagala enkyukakyuka nti, baleke okwogera ku buntu obutono omulamwa bagusse ku kuggya Pulezidenti Museveni mu buyinza bw’amazeemu emyaka 35 ng’afuga.

Yagambye nti, abantu okuva ku nsonga ennene ne batandika okwogera ku ye ng’omuntu kimwongedde amaanyi okulwanirira enkyukakyuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...