TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawanguzi b'omulimi asinga bategeka kutandika SACCO

Abawanguzi b'omulimi asinga bategeka kutandika SACCO

Added 10th August 2018

Abawanguzi b’omulimi asinga bategeka kutandika SACCO

OKWEGATTA ge maanyi! Olugero luno lugendera bulungi ku nteekateeka y’abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga okwekolamu ekibiina ky’obwegassi okusobola okweyamba okufuna ssente z’okwekulaakulanya mu biseera by’omu maaso.

Guno mwaka gwa kutaano ng’empaka z’omulimi asinga zitegekebwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde ng’eyambibwako ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi eya KLM ne Koudjis Nutrition BV, ekola emmere y’enkoko n’ensolo.

Bwe baabadde mu lukiiko olusooka olwatudde ku kitebe kya Vision Group Nga August 3, akulira kkampuni ya Vision Group, Robert Kabushenga yagambye nti empaka z’omulimi asinga zisikirizza abantu bangi mu ggwanga okutandika okulima n’okulunda nga bizinensi. “Okusobola okusigala nga baamugaso era b’amaanyi ng’abalimi n’abalunzi okuva ku kuwangula empaka zino, balina okusigala nga beeteekerateereka ebiseera by’omu maaso nga bayita mu kwegatta. Mu Budaaki abawanguzi gye bagenda abalimi baayo bayita mu kwegatta era ndowooza naffe twandibadde twekolamu ekibiina okweyamba”, Kabushenga bwe yagambye.

Yasabye abawanguzi okubaako omutemwa gwa ssente gwe batereka okumala akaseera okusobola okuzimba omusingi gw’okutandikawo bbanka y’obwegassi. “Okugeza ssinga buli mulimi asobola okutereka obukadde 12 omwaka, ku balimi 46 abawangudde empaka zino mu myaka ena, kitegeeza nti tufuna obukadde 500 mu mwaka gumu ate mu myaka 10 tubeera n’obuwumbi butaano”, Kabushenga bw’agamba.

Okusinziira ku nteekateeka za SACCO, buli muwanguzi mu mpaka zino akkirizibwa okuyingira mu kibiina kino nga mu kiseera kino bammemba bali 46 ng’oluvannyuma lw’okulonda abawanguzi b’empaka zino bagenda kuwera 59 kuba abagenda okulondebwa bali 13.

Josephat Byaruhanga, okuva ku kitebe kya Budaaki mu Uganda yagambye nti, enteekateeka eno nnungi eri obulimi n’obulunzi mu ggwanga n’agamba nti ekibiina ky’obwegassi kya kwongera okuyamba abalimi n’abalunzi nga bali wamu. Edward Ssenkindi, avunaanyizibwa ku kukulaakulanya obulimi n’obulunzi mu bbanka ya dfcu abawadde amagezi okubeera abeerufu ku bigendererwa by’ekibiina kino ekigenda okutandikibwa.

Johnson Basangwa, omuwanguzi w’empaka mu 2015, agamba nti wabaddewo obuzibu mu kufuna ssente z’okutandika n’okwongera amaanyi mu faamu zaffe. “Nkakasa nga ssinga tutandikawo SACCO yaffe n’etandika bulungi, kigenda kutuyamba okufuna ssente ze twetaaga”, Basangwa bw’agamba.

Isaac Malinga, omuwanguzi w’omwaka mu 2017 okuva e Kapchorwa agamba nti ekibiina kino kyakuyamba abalimi n’abalunzi okufuna akatale k’ebyamaguzi byabwe kuno n’ebweru w’eggwanga nga bafunye eddoboozi eryawamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...