
Kamuswaga w’e Kooki, Apollo Sansa (mu ssuuti) nga yaakatuuka ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe; addiriddwa Katikkiro w’e Kooki Hajji Iddi Ahmed Kiwanuka (mu byeru)
BYA GODFREY SSEMPIJJA
Bino Kamuswaga Apollo Sansa yabyogedde yaakatuuka ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe okuva e Bungereza gy’amaze wiiki ennamba.
Ono yawerekeddwaako Katikkiro w’Obwakamuswaga, Hajji Iddi Ahmed Kiwanuka wamu ne Godfrey Kimbugwe nga baakomeddewo mu nnyonyi ya Emirates.
Ezimu ku nsonga ezaatwala Kamuswaga e Bungereza yakusakira Obwa kamuswaga era ng’ebimu ku bye baataddeko essira kuliko ebyobulamu, ebyenjigiriza okuzimba enzizzi ez'omulembe.
Katikkiro yategeezezza nti baagala okulaba nga Kooki ayongera okulaakulana mu buli kintu, Abakooki basobole okweyagalira mu ggwanga lyabwe.
Yakaatiriza ensonga y’okutandikawo ttivvi ne leediyo kubanga balina ebyuma byonna nti kyokka abakulira ebyempuliziganya tebannabakkiriza wamu n’okubawa omukutu kwe balina okukolera naye n’agumya Abakooki nti obudde bwonna baakutandika .
Yagasseeko nti olugendo lwabwe terugenda kubasala kubanga baakufunamu nnyo era nti waliwo abasawo abagenda okutuuka mu ggwanga okuva e Bungereza, abasoba mu 40 abagenda okujjanjaba abatuuze b’e Kooki era omulimu guno gwakubeera mu ddwaaliro ly’e Rakai General Hospital.