TOP

Babakutte ku by'okusaddaaka abantu

Added 13th August 2018

Babakutte ku by'okusaddaaka abantu

 Ssebuyungo n'obuwanga

Ssebuyungo n'obuwanga

OMULAMBO ogumu gwabadde gwefunyizza nga gulinga ogutudde mu ntaana! Omulambo omulala gwabadde gwesimbye ku ludda olumu olw’entaana nga gwewunzise. Abaakwatiddwa n’emirambo gino mu ssabo lyabwe bwe baabanoonyerezzaako ennyo ne kizuulwa nti ku bantu ababiri abo, baabasuula mu ntaana nga balamu ne babaziika ne bafiiramu.

Emirambo gyonna awamu gye baabaziikuzza gyabadde etaano, wabula ebiri gyakanze nnyo abanoonyereza ku butemu buno bwe baakizudde nti baaziikibwa balamu. Omu ku baakwatiddwa yategeezezza bambega b’amagye mu kitongole kya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) nti abantu ababiri abaakwatibwa baaziikibwa balamu era baasooka kubakuba kalifoomu ne balyoka babakanyuga mu ntaana, ne baziika.

Emirambo ena gyabadde mijjuvu, kyokka ogwokutaano baazudde kawanga era amagye nga gali wamu ne poliisi bakyanoonyereza ekiwuduwudu gye kyateekebwa. Emirambo gyonna gyaziikuddwa mu ssabo lya Owen Ssebuyungo Ssonko ku kyalo Kisoga mu ggombolola y’e Ntenjeru e Kayunga.

Ssebuyungo bwe yakwatiddwa yayanguye mangu okulonkoma banne era yeezinze nnyo ku linnya Mohammed Wamala ow’e Nansana. Ssebuyungo yabadde alumiriza nti Wamala yabadde awamba abantu abo n’abattira e Nansana oluvannyuma emirambo n’agissa mu mmotoka n’agitwala e Kayunga ne basiima entaana mu ssabo ne bagiziikamu.

Wadde Ssebuyungo teyayogedde ku bantu ababiri abagambibwa nti baaziikibwa balamu, kyokka omu ku bakongozzi yalumirizza nti abamu baabaziika bakyassa naye nga balina bye babakoze era nga bagonze nnyo, basigaddeko kikuba mukono.

ENGERI GYE BAAZUDDE EMIRAMBO Okukwata abasajja bano kyaddiridde Poliisi y’e Naggalama okufuna abagitemyako nti omuwala Zulaika Mirembe eyabula mu June 2017 baamuttira mu ssabo lya Ssebuyungo.

Mirembe yali akola mu Vision for Africa era muwala wa Harriet Nabitaka e Kyampisi mu Mukono era Mirembe yalina omwana omuto gwe baamulesa. Ssebuyungo yagambye nti Wamala yali aludde ng’amulagira anoonye omuwala ow’oluzaalo olumu amumutwalire bamukoleko emikolo bafune bye beetaaga, nti wabula bwe yamugamba nti ebyo tajja kubisobola, olwo Wamala kwe kumugumya ng’amugamba nti; “Olaba tutta bantu ne tubaggyamu emitima ne tugirya, naye ate okufuna obufunyi omuwala eyazaalako?” Omu ku baserikale e Naggalama yategeezezza Bukedde nti, oluvannyuma lw’okuzuula nti ebintu byonoonese, Wamala yeesitula n’agenda ku kitebe ky’ekitongole ky’amagye ekikessi (CMI) nga yeefudde ayagala okubawa amawulire ku Ssebuyungo era n’ategeeza bambega b’amagye nti azudde waliwo omusamize abadde atta abantu y'e Ssebuyungo e Kayunga.

Kigambibwa nti ne CMI yasitukiramu okuyamba ku poliisi y’e Naggalama nga Wamala bamweyambisa ng’omujulizi abawa amawulire ku mutemu.

Ssebuyungo ye yasoose okukwatibwa. Abakongozzi ba Ssebuyungo babiri; Fred Kizza Ssemanda ne Junior Kibuuka nabo poliisi yabakutte wabula mu kukola siteetimenti, baalumiriza Wamala nti naye mu by’okutta abantu abirimu.

Ku Lwomukaaga, baakutte Ssebuyungo n’abakongozzi be ababiri ne baaza amasabo Wamala gonna. Ssebuyungo yabakulembeddemu ng’abalaga buli ntaana we baaziika abantu. Ku mirambo etaano gye baggyeeyo kuliko gumu ogulabika nga gwa mukazi ate emirala ena giriko obubonero obulaga nti gya basajja. Ku mulambo gw’omukazi kwabaddeko essweeta ey’ekikyala.

Emirambo gino gyabadde tegikyategeerekeka kubanga gimaze ebbanga nga giziikibwa era kigambibwa nti ogwasembyeyo baaguziise ku ntandikwa ya mwaka guno. Bwe baamaze okuziikula emirambo ne gitwalibwa e Wandegeya mu Government Analytical Laboratories okwekebejjebwa, aba CMI baakubidde Wamala ne bamuyita nga bamugambye nti balina bye baagala abongere ku bujulizi bwe yawa ku Ssebuyungo era olwatuuseeyo ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi ya Jinja Road we baamuggye ekiro ky’Olwomukaaga okumutwala e Naggalama. Mu kiseera kino, emirambo gyazziddwa e Mulago.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Lucas Owoyesigyire yategeezezza nti, abantu be baakutte baabagguddeko emisango gy’obutemu egiri ku fayiro CRB 225/2018.

EBIZUUSE KU BASAJJA ABABIRI BE BALUMIRIZA

Wamala 35, ow’e Nansana ne Ssebuyungo Ssonko ow’e Kayunga be batunuulidde ng’emitwe emikulu mu butemu buno. Wamala yawasa bannyina ba Ssebuyungo babiri era amuyita “muko”. Wamala musawo wa kinnansi era yasooka kusawulira Kangulumira mu Kayunga, wabula mu 2013 n’asenguka n’adda e Nansana – Gganda mu Nassere Zooni w’abadde asawulira okumala emyaka etaano Wamala ye yatendeka Ssebuyungo obusawo bw’ekinnansi era ne bakwataganira wamu okufuna ekifo e Kisoga we baateeka essabo era wano we baazudde emirambo.

Wamala ng'olumu yeeyita Bob era aba poliisi baamukwatako omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okutwala omuntu ku lusozi e Mityana nti agenze kumwambulula, wabula n’amunyaga n’amutunza n’ebibye byonna. Oluvannyuma yayimbulwa n’addamu okukola obusawo bw’ekinnansi.

Abadde yeeyogerako ng’omuwandiisi w’ekibiina ekigatta abasawo b’ekinnansi ekya Uganda n’Eddagala n’Obuwangwa Bwaffe mu disitulikiti y’e Wakiso. Ssebuyungo naye babadde bamwemulugunyaako okuviira ddala mu famire era kigambibwa nti ne nnyina Nansubuga babadde tebakwatagana olw’ebikolwa maama bye yalaba nga tebisaana.

Akulira abasawo b’ekinnannsi e Kayunga, Njuki Zikusooka yagambye nti bamaze ebbanga nga bagezaako Fred Kizza Junior Kibuuka okukwata Ssebuyungo naye nga balemesebwa.

Bwe baatuusiddwa ku poliisi e Naggalama, buli omu yalumirizza munne nti ye mutemu. Bambega banoonyereza ku Wamala okuzuula oba alina akakwate ku kutemula abakazi okwakolebwa ennyo e Nansana omwaka oguwedde.

Ssebuyungo yalumirizza Wamala nti ye yatta omuwala Mirembe. “Wamala yasooka kunsaba mukwanire omuwala oyo era olunaku lwe yamutta, yasula naye mu ssabo oluvannyuma n’amutta nga busaasaana era omulambo n’aguziika mu ssabo lyange” Ssebuyungo bwe yalumirizza.

Wabula ne Wamala yakitadde ku Ssebuyungo nti ye mutemu era n’oku-kwatira emirambo mu ssabo lye bujulizi obumala okulaga nti ye mutemu. Yattottodde nti, Omukadde Nansubuga (maama wa Ssebuyungo) ye yasooka okwemulugunya nti Ssebuyungo yali ayingiddemu emize gy’okusaddaaka.

Wamala agamba nti, yeesitula n’agenda mu kyalo e Kayunga bakwate Ssebuyungo era n’atuuka ne ku LC naateekayo ebbaluwa kyokka yeewunya okuba nga ate eyabadde yeewaddeyo okuyamba aboobuyinza okukwata omutemu ate naye bamutaddeko obutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...