TOP

Kampeyini z'e Arua zaawudde Besigye ne Bobi Wine

Added 14th August 2018

KAMPEYINI z’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua Munisipaali ekyalimu omugenzi Col. Ibrahim Abiriga zaakomekerezeddwa eggulo ku Mmande n’enkuhhaana gaggadde ssatu ezaasannyalaza emirimu mu kibuga kino.

Okulonda kwa nkya ku Lwakusatu nga August 15, 2018, ng’abalonzi abasoba mu 40,000 lwe bagenda okusalawo ku beesimbyewo 12.

Abeesibyewo kuliko; Nusura Tiperu (NRM), Bruce Musema (FDC), Jaffar Alekua (Jeema) Kennedy Madira (DP) n’abatalina bibiina; Kassiano Wadri, Francis Elton Nyero, Sunday Anguandia, Alfred Nyakuni, Jackson Atima, Simon Avutia, Safi Bavuga ne Robert Ejiku.

Okuvuganya okw’amaanyi kuli wakati wa Tiperu, Wadri ne Musema.

Nga Besigye ne Bobi Wine bazzeemu okwegera eryanyi. Besigye awagira Bruce Musema ate Bobi Wine awagira Kassiano Wadri.

Pulezidenti Museveni yakubye olukuhhaana gaggadde mu kibangirizi ekya Arua Boma Ground mu divizoni ya Arua Hill n’asabira Tiperu akalulu nti gw’ajja okukolagana naye nga bwe kyali n’omugenzi Abiriga okukulaakulanya ekitundu.

Olukung'aana lwa Pulezidenti Museveni lwetabiddwaako ebikonge bya NRM omwabadde baminisita n’abakulembeze ku kitebe ky’ekibiina bonna nga basabira Tiperu akalulu.

Nga Pulezidenti tannakuba lukuhhaana, enkambi ya Tiperu yasoose kubuguma oluvannyuma lwa Swadic Angupale eyawangulwa mu kamyufu ka NRM okulangira nga bwe yeegasse ku Tiperu.

Avunaanyizibwa ku by’amawulire mu NRM, Rogers Mulindwa, omumyuka wa Ssaabawandisi wa NRM Richard Todwong baakoze omulimu munene okumatiza Angupale okwerabira enjawukana ezaali mu kamyufu awagire Tiperu, NRM ewangula ab’oludda oluvuganya

BESIGYE NE BOBI WINE BAZZEEMU OKWAWUKANA

Besigye kampeyini yazikubidde Musema nga yabadde n’ebikonge bya FDC okwabadde Pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat, Ssaabawandisi Nandala Mafabi n’abalala.

Omubaka wa Kyaddondo East Sentamu Kyagulanyi ‘Bobi Wine’ ali ku Wadri nga baakubye olukung'aana gaggadde olwetabiddwaako ebikonge okuva ku ludda oluvuganya okuli aba DP n’aba FDC abeewaggudde.

Abamu ku ba FDC abeewaggudde kuliko; Maj. Gen. Mugisha Muntu, Paul Mwiru bagamba nti Wadri i alina omukululo mu byobufuzi wa muzinzi era ajja okusobola okugatta oludda oluvuganya mu Palamenti.

Bobi Wine yagambye nti wadde Wadri musajjamukulu, yasazeewo okumuwagira kubanga bbo ng’abavubuka abaali mu kaweefube ow’okukyusa obukulembeze, beetaaga abantu abakulu okubabugiriza

EBYOKWERINDA BINYWEZEDDWA

Poliisi eyongedde abaserikale mu Arua okunyweza obutebenkevu okuzinziira ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu