TOP

Bamukutte agenze kweyimirira munne

Added 19th August 2018

Bamukutte agenze kweyimirira munne

 Asadu Yiga nga bamuzaayo mu kkomera.

Asadu Yiga nga bamuzaayo mu kkomera.

OMUKINJAAGI agambibwa okubeera omubbi w’ente ng’abadde anoonyezebwa poliisi, bamukwatidde mu kkooti ng’agenze okweyimirira munne. Poliisi yakutte Asadu Yiga n’ente enzibe 15, mu kikomera kye e Kibibi era bwe baamututte mu kkooti mukwano gwe Yasin n’ajja okumweyimirira.

Yasin kigambibwa nti y’omu ku batigomya abalunzi b’ente mu Mpigi, Gomba, Butambala ne Mityana nga babba ente zaabwe era abatuuze olwamukubyeeko amaaso kkooti n’etabuka.

Abatuuze baayise poliisi eyabadde eduumirwa DPC w’e Butambala Hashim Kasinga, okukwata Yasin. Kyokka poliisi yasanze akaseera akazibu okumunyweza kubanga obwedda alwana ng’agezaako okubeesimatulako adduke.

Abatuuze baabadde bangi ku kkooti e Mpigi, oluvannyuma lw’okufuna amawulire nga kkooti bwe yabadde egenda okuyimbula Yiga. Obwedda abatuuze baleekaanira waggulu nti, “bwe mumuta tujja kumwekolerako”. Kkooti bwe yatabndise abantu beekanze okulaba Yasin ng’ayingira baasoose butamutegeera kyokka bwe baamwetegerezza nga ye mukinjaagi gwe baludde nga banoonya olw’okubabbira ente zaabwe.

Yasin embeera yagitegedde n’agezaako okufuluma kyokka abaserikale ne bamukwata. Omulamuzi bwe yalabye embeera ng’etabuse omusango gwa Yiga n’agwongezaayo okutuusa nga August 28, omwaka guno era kkooti n’eyabuka. Ekikolwa ky’Omulamuzi kisannyusizza abatuuze ne basaba poliisi okukwata abantu Yiga baabadde akolagana nabo mu bubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.