TOP

Ab'e Kalungu bawadde bayinvesita obukwakkulizo

Added 19th August 2018

Ab’e Kalungu bawadde bayinvesita obukwakkulizo

 Birungi ng’ayogera mu lukiiko lw’abatuuze ne bayinvesita.

Birungi ng’ayogera mu lukiiko lw’abatuuze ne bayinvesita.

ABATUUZE ku byalo bisatu okuli Kakwanzi, Kamwanga ne Kantuule mu ggombolola y’e Bukulula e Kalungu bateereddewo kkampuni ya bayinvesita obukwakkulizo, bwe baba baagala obuwagizi bwabwe.

Nga bakulembeddwa bassentebe baabwe; Charles Balikuddembe (Kakwanzi), Ahmadah Ssentongo (Kamwanga) ne Emmanuel Ssonko (Kantuule) mu lukiiko olwatudde ku Lwokusatu e Kakwanzi nga babanjulira kkampuni y’Abachina abalimi b’omuceere emanyiddwa nga Zhong Yi Industries, baabagambye nti okuzimba mu kitundu kyabwe balina okubasimira nayikondo bafune amazzi amayonjo, okubakolera amakubo amalungi ate ekisinga obukulu, okubawa emirimu.

Era baggumizza nti Abachina bwe batuukiriza ebyo, tebajja kufuna buzibu bwonna okuva mu batuuze. Kino kiddiridde Abachina bano okufuna ettaka ly’ekisenyi kwe bateekateeka okulimira omuceere. Abatuuze bagamba nti okulimira mu kisenyi kino, kyandivaako ebbula ly’amazzi ge bakozesa naddala mu biseera eby’omusana noolwekyo bayinvesita balowooze ku ky’okubasimira nayikondo.

Omukwanaganya wa kkampuni eno n’abatuuze, Victor Mpinga ku lw’Abachina yategeezezza nti tebalina kigendererwa kyonna kya kulumya bantu nga bakolera mu kitundu kyabwe, n’abagumya nti era beetegefu okukkaanya nabo ku byetaago byabwe ebinaasoboka.

Yasabye abatuuze okwaniriza enkulaakulana mu kitundu kyabwe kubanga ng’oggyeeko emirimu emingi gye bagenda okufuna mu kkampuni eno, waliwo ne pulojekiti endala ng’amasomero n’amalwaliro bye bateekateeka okuleeta mu kitundu.

Olukiiko lwetabiddwaamu ne Vianney Birungi, akulira poliisi y’e Lukaya etwala n’ekitundu kino eyagambye nti nabo ng’abakuumaddembe beetegefu okutunula enkaliriza ku nsonga eno okulaba nga tewali ludda lunyigiriza lulala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...