TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Lwanga ayagala kugenda Makindye asabire Bobi Wine

Dr. Lwanga ayagala kugenda Makindye asabire Bobi Wine

Added 20th August 2018

SSAABASUMBA w’essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye okugenda e Makindye awe omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) essakalamentu lya kusiigibwa kw’abalwadde.

 Ssaabasumba Lwanga mu kusaba. Ku ddyo ye Bro. Deodti Aganyira, omukulu w’essomero.

Ssaabasumba Lwanga mu kusaba. Ku ddyo ye Bro. Deodti Aganyira, omukulu w’essomero.

SSAABASUMBA w’essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye okugenda e Makindye awe omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) essakalamentu lya kusiigibwa kw’abalwadde.

Ssaabasumba okwogera bino yabadde akutte Ssemateeka w’eggwanga n’agamba nti, Pulezidenti Museveni yagambye mu mawulire ga New Vision eyafulumye nga August 17, “omuntu yenna aneenyigira mu kutyoboola eddembe ly’abalala anaaba amenye etteka era waakutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe”.

Tusuubira nti n’ababadde emabage w’okutulugunya abakaka Zaake ne Kyagulanyi n’abantu abalala mu Arua baakusimbibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.

Ssaabasumba yagambye nti, ‘’Namaze dda okuwandikira be kikwatako okunzikiriza okugenda mu nkambi y’amagye gye basibidde Bobi Wine mmuwe essakalamentu lya kusiigibwa kwa balwadde eriweebwa abalwadde abayi kubanga agwanidde okulifuna naye sinnafuna kuddibwaamu”, Dr. Lwanga bwe yagambye.

Yategeezezza nti yalambudde omubaka Zaake bwe baali ne Bobi Wine n’amuwa essakalamentu lye limu.

Yagguddewo ekizimbe ekyazimbiddwa abaasomerako mu ssomero lino mu gye 70 n’awa n’abayizi 22 essakalamentu lya Kofi rimansiyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...