TOP
  • Home
  • Amawulire
  • E Mityana omuntu akubiddwa amasasi n'attibwa: Abalala banyiga biwundu

E Mityana omuntu akubiddwa amasasi n'attibwa: Abalala banyiga biwundu

Added 20th August 2018

Amawulire agaatabadde matuufu ag’okufa kwa Zaake gaatabudde ab’e Mityana ne batandika okwekalakaasa. Bazibye enguudo eziyitamu n’okuva n’okudda e Kampala mwe baasudde ebipiira n’okubikumako omuliro.

 Takisi eyakubiddwaamu amasasi.

Takisi eyakubiddwaamu amasasi.

Okwegugunga kwatandikidde okuliraana ofiisi y'omubaka Zaake ne kusaasaana mu katale ka Mityana Central Market.

Abeekalakaasi baabadde bawanise ebipande okuli ebigambo nga balaga obutali bamativu ku babaka Zaake ne Bobi Wine.

Ebigambo bino bibaddemu n'obubaka obusaba Pulezidenti Museveni okuyimbula omubaka Robert Ssentamu Kyagulanyi (Bobi Wine).

POLIISI EKUBYE AMASASI MU TAKISI

Wakati mu kwekalakaasa, olw’okuba amakubo gaabadde gazibiddwa waliwo takisi nnamba UBA 869C eyabadde esaliikiriza ng’eyitira e Wabigalo, ejje mu tawuni e Mityana okugenda e Busujju ku mipiira gy’amasaza poliisi gy’ekubyemu amasasi n’ettiramu omuntu.

Eyattiddwa ye Sam Sekiziyivu ow’e Wabigalo. Abasimattuse bategeezezza nti takisi olubadde okwerula mu luguudo abaserikale ne bagiragira okuyimira era ddereeva abadde akyanoonya w’ayimirira ne bagisasiramu amasasi okuva embega ne gayita mu mitto ne gakwasa abasaabaze.

Omu afiiriddewo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro Ekkulu e Mityana ate abalala ne bagendera ku bisago.

Takisi esikiddwa n’etwalibwa ku ddwaaliro n’esuulibwa awo ng’erimu omusaayi, ebituli n’ebisosonkole by’amasasi.

Abantu nga beekalakaasa

 

EMBEERA ESAJJUKA

Eby’okutta omusaabaze nga tebinnabaawo, abeekalakaasi baasoose kussa bipiira mu kkubo eriyingira akatale, ebiwempe n'ebisaaniiko bye baayiyeemu amafuta ne babikoleeza.

Wano baavuddewo ne bagenda mu Kikuubo kya Market Street nabo ne bakumawo omuliro.

Boolekedde ku Station Road awali abasubuuzi abangi nawo ne baggala oluguudo n'okulukumamu omuliro.

Baabadde baakaggala enguudo nnya emmotoka ekizikiza omuliro ne zituuka nga ziwerekerwako kabangali za poliisi.

Abaserikale ba poliisi baatandise okukuba amasasi mu bbanga okugumbulula abeekalakaasi ne badduka ne bakuma omuliro omulala ne basaasaana mu makubo amalala okuli; Kigogwa - Kayunga, Busuubizi awasula omubaka, Kampala-Mityana okutuuka e Zigoti, Mityana-Mubende n’okweyongera mu makubo g’ettaka.

Poliisi kyagitwalidde akaseera akazibu okuzza embeera mu nteeko. Mu bifo ebimu obwedda egobagana n'abavubuka ng’abamu bwe beesogga emyala ne babula.

Ebifo ebimu yabikubyemu omukka ogubalagala n’okukuba amasasi mu bbanga nga nabo bwe babakanyuga amayinja n’enkonyogo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Nobert Ochom yategeezezza nti, poliisi tegenda kukkiriza bikolwa bya kwekalakaasa okuggyako nga bafunye olukusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...