
Ssentebe w'akakiiko akagatta enzikirizza zonna mu Uganda aka Inter Religious Council Sheikh Ramathan Mubaje (ddyo) ng'ayogera mu lukung'ana lwa bannamawulire ku kitebe kya e Lungujja. Ku kkono y'akulira ekigatta Abalokole ekya Born Again Faith Federation Dr. Jpseph Sserwadda.
Bya SCOVIA BABIRYE
Ono asinzidde ku kiwandiiko Pulezidenti Museveni ky'afulumizza nga kiraga nti omubaka Zaake yadduse mu kaduukulu ka Poliisi ate nga mu kusooka bamwegaana nti tebamulina.
Mubajje ategeezezza Gavumenti nti abantu abakwatibwa balina okuweebwa omukisa okulaba abantu baabwe, baweebwe obujjanjabi ate bayisibwe bulungi ng’abantu abalala kuba eryo ddembe ly’abwebange si lyakumala kusaba oba kusaba muntu mulala kuba n’omukka tewali agusasulira .
‘’Tugenda kubiteekamu engatto tugenda mu Arua tulabe ekyaviirako obuzibu n’ebyogerwa oba bituufu wamu n’okulaba woteeri eyogerwako omwali emmundu ze bagamba naye kijja kutwewunyisa nnyo bwe tunaasanga nga wooteeri eyogerwako ekola ate nga y'ensibuko y’obujulizi,’’ Mubaje bw’ategeezezza.
Ono asabye Gavumenti okuwa ababaka ba Palamenti ekitiibwa wamu n'abawagizi baabwe, okukomya okukozesa amaanyi agayitiridde nga bakkakkanya abantu wamu n'okuwanga ssemateeka ekitiibwa kuba akkiriza Bannayuganda okukozesa eddembe lyabwe.