TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayimbi baagala kukola bivvulu kusondera Bobi nsimbi za bujjanjabi

Abayimbi baagala kukola bivvulu kusondera Bobi nsimbi za bujjanjabi

Added 21st August 2018

ABAYIMBI baatuzizza olukiiko ku Calender Hotel e Makindye ne bateesa ku ngeri y’okuyambamu muyimbi munnaabwe Bobi Wine okuva mu kkomera n’okufuna obujjanjabi.

 Abayimbi mu lukuhhaana lwa bannamawulire ku Calender e Makindye.

Abayimbi mu lukuhhaana lwa bannamawulire ku Calender e Makindye.

Wano muganda wa Bobi Wine yabadde amaze okubategeeza nti mutowe akyalina obulumi munda yadde ku ngulu amabwa gatandise okukala agenda asigaza nkovu olw’eddagala ery’amaanyi lye bamukuba.

Bano okwabadde ne bannakatemba baakulembeddwamu Dr. Jose Chameleon eggulo nebategeeza nti beetegefu okukola buli kisoboka okutaasa munnaabwe.

Ate omuyimbi King Saha yagambye nti, bagenda kukola ebivvulu nga batalaaga eggwanga ssente zebanaabiggyamu, bajja kuzikozesa ku bujjanjambi bwa muganda wabwe Bobi. Era bategese okumusabira okwenjawulo.

Yawe yagambye nti wadde abasawo b’amagye bafubye okujjanjaba ebiwundu, Bobi Wine akyawulira obulumi olw’obuvune obwamaanyi bwe yafuna munda mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Yawe era agamba nti okujanjaba ebiwundu bya Bobi Wine n’amaanyi kigendereddwamu kubuuzabuuza n’okulowoozesa abantu abannamulaba ng’aleeteddwa mu kkooti ku Lwokuna nti ali mu mbeera nungi ekitali kituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...

Kamuze ng’aziikibwa.

Owa LDU asse omutuuze lwa k...

ABAVUBUKA abaabadde batambula mu ssaawa za kafiyu, owa LDU abakubyeemu amasasi ne gakwatako omu n'afa. Ivan...

Lukwago

Ffamire ya Lukwago etidde o...

FFAMIRE ya Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago eraze okutya nti obulwadde obumuluma bwandiba nga bwekuusa ku mbeera...