TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi gye yakubye essasi e Mityana alese omukazi owoolubuto

Poliisi gye yakubye essasi e Mityana alese omukazi owoolubuto

Added 21st August 2018

BAZADDE b’omugenzi Sam Ssekiziyivu eyattiddwa g mu kwekalakaasa e Mityana balaze obutali bumativu ku ngeri poliisi gy’ekuttemu ensonga z’abantu baabwe.

BYA SOPHIA NALULE

Wakati mu batuuze okwekalakaasa waliwo owapoliisi eyabadde awandagaza amasasi okugumbulula abeekalakaasi eyakubye essasi mu takisi eyabadde etwala abawagizi ba Ssingo FC ku mupiira gw’amasaza era Ssekiziyivu yafiiriddewo n’abalala ne bagenda n’ebisago.

Sam Ssekiziyivu 34, yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo mu kifuba bwe yabadde mu takisi nnamba UBA 869C eyabadde eva e Wabigalo ng’edda e Busujju ku mupiira gw’amasaza.

Ssekiziyivu yabadde n’abantu abalala mu takisi nabo abaakoseddwa okuli Francis Jingo, Reagan Muwonge, Jaria Nakiryowa, Derrick Ssengooba ne Doreen Asiimwe abaddusiddwa e Mulago.

Mu lumbe olwakumiddwa mu maka ga kitaawe, Samuel Mugerwa e Lubumba mu Kassanda, abooluganda baanenyezza poliisi nga bwe yalemeddwa okukwata abeekalakaasi kyokka nedda mu kutta omuntu waabwe ataabadde na musango.

Jennifer Nalubega (maama w’omugenzi) yasabye Gavumenti okuyambako Nnamwandu okulabirira bamulekwa.

SSEKIZIYIVU Y’ANI

Ssekiziyivu abadde mutuuze ku kyalo Katanda mu divizoni y’e Busimbi e Mityana.

Abadde musubuuzi wa kasooli era nga ye pulezidenti wa Ssingo FC era omuwagizi wa tiimu y’essaza ly’e Ssingo lukulwe.

Alese omukyala, abaana babiri n’olubuto.

ABEEBYOKWERINDA BEENENYEZZA

RDC w’e Mityana, Capt. Yahaya Kakooza eyakikiridde Gavumenti mu kuziika yasabye abakungubazi okusonyiwa abasse omwana waabwe kuba bwabadde butanwa.

EMBEERA BW’ERI E MITYANA

Oluvannyuma lw’abantu e Mityana okwekalakaasa ne baggala enguudo zonna ku Ssande, amagye bwakedde gayiiriddwa.

BABIRI BAKWATIDDWA

Mu kwongera okukkakkanya embeera n’okuzza emitima gy’abantu, poliisi ekutte abaserikale baayo babiri abagambibwa okukuba amasasi agasse omuntu mu kwekalakaasa e Mityana ku Ssande.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Mmande ekyasomeddwa omwogezi wa poliisi, Emilian Kayima yagambye nti abaserikale okuli Cpl. Kefa Moshi ne Morris Chemutai be baakwatiddwa nga kigambibwa nti be baakubye amasasi agaakwasizza takisi, ne gatta Ssekiziyivu.

Kayima yagambye nti abaalumiziddwa baggyiddwa mu ddwaaliro e Mityana ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago kuliko; Lawrence Jjingo, Nalia Nakiryowa, Reagan Muwonge ne David Asiimwe. Abalala ne basiibulwa.

Yagasseeko nti mu kukakkanya okwekalakaasa, poliisi yakutte abantu 23 nga bagenda kubasunsulamu basigaze abakwetabyemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...