
EGGULO we bwazibidde nga famire, emikwano n’abawagizi b’omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu balina entegeka okumusabira ekitambiro kya Mmisa mu Lutikko e Lubaga leero.
Bino byasaliddwaawo oluvannyuma lw’akafubo ka famire ke yabaddemu era bagambye nti, bwe wataabeewo kikyuka, Mmisa baagala etandike ku ssaawa 7:00 ez’emisana.
Baategeezezza nti, baafunye okukakasibwa nti ejja kukulemberwa omumyuka wa bwanamukulu Fr. Deogratias Kiibi Kateregga amanyiddwa ennyo okuyigiriza ku bintu ebikwata ku mitima gy’abantu.
Ono ye yayigiriza mu kusiibula omuyimbi Mozey Radio ku Lutikko e Lubaga era okuyigiriza kwe kwakwata ku bantu bangi.
Ssaalongo Geofrey Kayemba maneja w’abayimbi Rema Namakula ne Chris Evans omu kubateesiteesi ba Mmisa eno yategeezezza nti, oluvannyuma lw’okuyita mu mitendera emituufu n’okukwatagana n’abakulira Lutikko e Lubaga baabakkirizza okusabira omubaka Kyagulanyi mu Lutikko okusobozesa famire, emikwano n’ehhanda okwetabamu.
Yagambye nti mu kusooka babadde baategese kusabira mu maka ge e Magere wabula nga kuno kwabadde kwa kaadi olw’obufunda bw’ekifo era nga kino kyabadde kinyiizizza abamu ku bawagizi ba Bobi Wine .
Enteekateeka z’okutegeka okusaba okw’awamu zaatandika wiiki ewedde wabula ne ziyimiriramu oluvannyuma lwa bwanamukulu Fr.Joseph Mary Bbuye okubasaba okusooka okufuna olukusa okuva ewa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
Ssaabasumba Lwanga nga ye muwabuzi wa Kyagulanyi mu by’omwoyo yasinzidde mu Mmisa y’okujjukira omuwolereza w’essomero lya St. Mary’s Kisubi ku Ssande n’ategeeza eggwanga nti, yawandiikidde amagye ng’asaba okumukkiriza okugenda mu nkambi y’amagye e Makindye gye baasibira Bobi Wine amuwe essakalamentu lya kusiigibwa kwa balwadde n’okulaba embeera gy’alimu.
Abaneetaba mu Mmisa basuubirwa okutuuka ku ssaawa 6:00 ez’emisana. Buli lunaku ku ssaawa 7:00 ez’emisana wabeerawo Mmisa mu Lutikko e Lubaga.