TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Trump akyasattira ku by'okumuggyamu obwesige

Trump akyasattira ku by'okumuggyamu obwesige

Added 27th August 2018

PULEZIDENTI wa Amerika Donald Trump yeeyongedde okusattira bw’akitegedde nti ab’ekibiina kye ekya Republican be bawomye omutwe mu okumuggyamu obwesige.

Trump

Trump

Bino biddiridde akatuubagiro Trump ke yeesanzeemu okuva ku ntandikwa ya wiiki ewedde, Looya we era musajja we nfaafe Michael Cohen bwe yakkirizza emisango munaana (8) omuli egy’okubba emisolo, okuwa bbanka ebiwandiiko ebijinge n’akkiriza n’okusasula bamalaaya ba Trump obutitimbe bwa ssente baleme kwogera nti Trump yabaganzaako.

Abamu ku bamalaaya ba Trump, Cohen be yasasula obutitimbe bw’ensimbi ye; Stormy Daniels ne Karen McDougal, bombi Trump be yagula ne yeegandanga nabo kyokka n’abyegaana mu biseera bya 2016 we yeesimbirawo ku bwapulezidenti bwa Amerika.

Malaaya Stormy , Cohen yamusasula ddoola 130,000 (mu za Uganda obukadde nga 490) okusirika ku bya Trump okumuganza Cohen mu kukkiriza emisango yategeezezza kkooti nti yakolera ku biragiro bya Trump era ssente ze yasasula bamalaaya, zaali za Trump. Bino Trump byamukubye wala nnyo kubanga ebbanga lyonna azze yeegaana eby’okuganza bamalaaya.

Ekirala ekitadde Trump mu kattu y’engeri gye yakolagana n’ Abarussia abaamuyamba okuwangula akalulu nga bayita mu kulumika ofiisi ez’ekibiina ky’aba Democrats ne basomola ebyama bya Hillary Clinton gattako n’okutaataaganya kompyuta ne bakyusakyusa ebyava mu kalulu ne kimuwa (Trump) obuwanguzi.

Ensonga za Russia zinoonyerezebwako akakiiko ka Robert Mueller kyokka Trump kati yaggudde olutalo ku Ssaabawolereza we Jeff Sessions eyassaawo akakiiko ako nti akozesebwa abalabe be (Trump).

Agava mu nkuubo mu White House gagamba nti ekiseera kyonna Trump agenda kukwata ku nkoona Sessions kubanga amulaba ng’omuntu atamanyi ky’akola kubanga alese ekitongole Ekiramuzi okukozesebwa abalabe be okumusaanyaawo.

Kyokka Sessions yategeezezza ku Ssande nti waakiri okugobwa naye tajja kukkiriza Bannabyabufuzi okweyambisa ekitongole ekiramuzi okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Abatunuulirizi b’ebyobufuzi bategeezezza nti aba Republican beesomye okukulemberamu kaweefube ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...