TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bawambye omuwala e Nansana ne basaba obukadde 5

Bawambye omuwala e Nansana ne basaba obukadde 5

Added 27th August 2018

ABAZIGU bawambye omuwala e Nansana ne basaba aba famire ye obukadde butaano bwe baba bamwetaaga nga mulamu.

 Jenny Kaitesi eyawambiddwa.

Jenny Kaitesi eyawambiddwa.

Baamuwambye agenda kugula bikozesebwa mu kukola keeki ze yabadde atwala ku Auto Spar mu kusondera Abdulahuman Lusiba ow’omwaka ogumu n’ekitundu mutabani w’omukozi wa Bukedde Mahd Lusiba ssente z’obujjanjabi.

Jenny Kaitesi omutuuze w’e Nansana, yawambiddwa ku Lwomukaaga ku makya mu bitundu by’e Nansana ku Masitoowa.

Okusinziira ku muganda we, Fatia Kaitesi, baabadde bagenda bombi mu kusonda ssente ku Auto Spar e Munyonyo.

Agamba nti bwe yamukubidde essimu, yamugambye nti yabadde alina keeki ze yabadde ayagala okutwala mu kifo awaabadde okusonda ssente zeeyambisibwe okuweza obukadde 200 ezeetaagisibwa okutwala omwana ono e Buyindi okujjanjabibwa.

Yagasseeko nti, bwe yatuuuse ewuwe, yamugambye nti yabadde alina ekirungo kye yabadde yeetaaga okugula (Icing sugar) n’agenda akinone ku Masitoowa.

Agamba nti kyamutwalidde ebbanga nga tadda kwe kumukubira n’amugamba nti yabadde anaatera okukifuna.

Essaawa zaabadde mu 3:00 ez’oku makya. Bwe yalabye takomawo kwe kuddamu okukuba ku ssimu nga tagikwata n’amuweereza obubaka obuwandiike nti Icing sugar amuleke ne keeki baziveeko nga teri amuddamu.

Akawungeezi nga bamalirizza okusonda ssente, baafunye obubaka okuva ku ssimu ya Jenny nga bubategeeza nti, bwe baba bamwagala nga mulamu, babawe obukadde butaano.

Fatia yagambye nti yasoose kulowooza nti osanga essimu ya muganda we baagibbye ng’ababbi be bagizannyirako kwe kugenda ewuwe alabe oba gyali naye yasanzeeyo mukozi we n’amutegeeza nti okuva lwe yagenze ku makya tannakomawo.

Awo, we baatandikidde omuyiggo ne basooka bagendako ku CPS mu Kampala abaabagambye basooke ku poliisi e Nansana gye bagguddewo omusango gw’okuwambibwa kw’omuntu waabwe.

Abaamuwambye baasindise ku ssimu akatambi k’omuwala ng’asibiddwa emimwa ng’alabika yabadde atulugunyiziddwa ne babagattirako n’obubaka nga beewaana nga bwe baabadde bamusobezzaako.

Baabagambye nti ssente bwe ziba zibabuze, omulambo bagusange e Katende ku lw’e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita w'ebyobulamu Jane Acheng (ku ddyo) n'omukungu w'ekibiina ky'ebyobulamu Dr.Dr Yonas Tegegn (wakati).

Minisitule  y'ebyobulamu ey...

Minisitule  y'ebyobulamu eyongedde ku muwendo gw'abantu abalina okusooka okugemebwa ekirwadde kya covid 19 nga...

Minisita Elioda Tumwesigye ng'annyonnyola.

Gavt. etaddewo obuwumbi 17...

Gavt. etaddewo ssente obuwumbi 17 okwongera okutumbula obuyiiya. Ssente zino zigenda kugabirwa Bannayuganda...

Ababaka abalonde nga basimbye ennyiriri okuyingira bbaasi.

Ababaka ba palamenti aba NR...

Ababaka ba NRM abapya aba palamenti ey'omulundi 11 abasoba mu 200 basimbudde akawungeezi ka leero okwolekera olusirika...

Omulangira  Jjuuko ng'attotola abatemu bwe baalumbyemu.

Abeebijambiya balumbye ekya...

ABATEMU abatannategeerekeka balumbye ekyalo Nabaziza mu Kyengera Town Council mu Wakiso ne batemaatema abatuuze...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule.

Abakulembeze mukubirize aba...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu akubirizza abakulembeze mu Buganda okubeera...