TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Omukugu annyonnyodde ekiretera poliisi obukambwe n'okutulugunya abantu

Omukugu annyonnyodde ekiretera poliisi obukambwe n'okutulugunya abantu

Added 27th August 2018

MUNNAYUGANDA omukugu mu kubuuliriza ku by’emisango agambye nti obukambwe bwa poliisi n’amagye eri abantu babulijjo mu mawanga ga Afrika bususse ogw’omulamuzi kyokka n’agamba nti bino abafuzi b’amatwale be baabitandika okutukuumira mu buddu.

 Musaazi

Musaazi

Musaazi agamba nti poliisi n’amagye mu Afrika  bakiraba ng’ekya bulijjo okutulugunya abantu kuba abafuzi b’amatwale abagitandika bagissaawo kubakuumira mu buyinza n’okulemesa abantu baabulijjo abaali baagala okweranako n’okubalemesa okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Musaazi okwogera bino kiddiridde okutulugunya abantu okuzze kubeerawo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga poliisi n’amagye gakuba abantu emiggo, amasassi n’okubakolako ebikolobero mwe baatwalidde n’ababaka ba Palamenti.

Agamba nti omuntu bw’aba alina omusango gwazizza, akwatibwe atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.

Musaazi yagambye nti  eno y’ensonga lwaki abafuzi b’amatwale bassaawo  enkambi za poliisi nga buli we baagalira abaserikale basobole okubaggyayo ne babatwala okukkakkanya abantu bwe baba baliko ekibanyiizizza ne basalawo okukola effujjo.

Yategeezezza nti mu mawanga g’Abazungu abapoliisi basula mu bantu baabulijjo ku poliisi bagendayo kwambala yinifoomu kukola mirimu bwe kiba kibeetaagisizza n’agamba nti kyokka ebikolwa bino ebya poliisi okutulugunya abantu byefuze nnyo amawanga ga Afrika n’ekigendererwa ky’okukuumira gavumenti zaabwe  mu buyinza.

Yawadde eky’okulabirako e Guinea abantu bwe beegugunga nga baagala pulezidenti wayo Lansana Conte aveeko,ab’ebyokwerinda bakkakkana ku bantu ne babakolako effujjo n’okubatta.

Bino bye bimu ku byali e Gambia, Nigeria,Zimbabwe n’e Kenya poliisi n’amagye gye byatulugunya abantu. Mu mawanga agamu poliisi n’amagye byeyambisibwa mu bikolwa by’okubba obululu naddala obukosi bwe buba butambuzibwa.

Mu mbeera endala poliisi n’amagye byeyambisibwa kutiisatiisa bantu butenyigira mu kulonda bantu gavumenti b’eba teyagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.