TOP
  • Home
  • Agawano
  • Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi ne South Sudan baagala kutandika kukozesa ssente zifaananagana

Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi ne South Sudan baagala kutandika kukozesa ssente zifaananagana

Added 27th August 2018

BAGAVANA ba bbanka Enkulu mu mawanga g’obuvanjuba bwa Afrika okuli Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi ne South Sudan balaze okunyolwa olw’akasoobo akali mu ntegeka z’amawanga gano okutandika okukozesa ensimbi ezifaanagana.

 Gavana Mutebile

Gavana Mutebile

Bagavana ba bbanka zino okubadde  Dr. Patrick Njioroge okuva e Kenya, Polof. Florens Luoga ow’e Tanzania, Drier Tong Ngor ow’e South Sudan, Dr. Monique Nsanzabaganwa ow’e Rwanda , omumyuka wa gavana wa bbanka ya Uganda Enkulu , Louis Kasekende, Venutse Ndikumwenayo ow’e Burundi ne Keneth  Bagamuhunda  ow’oku kitebe ky’amwanga g’obuvanjuba bwa Afrika.

Polof. Emanuel Mutebile akulira Bbanka Enkulu eya Uganda ye yakubirizza olutuula lw’akakiiko k’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika akakwata ku by’ensimbi aka ‘East African Monetary affairs committee (MAC) olwetabiddwaamu  bagavana bano  olwayindidde ku Serena Hotel mu Kampala.

Bagavana baagambye nti entegeka z’okulaba ng’amawanga gano gakolagana bulungi mu by’ensimbi zitambudde kasoobo era mulimu okusoomozebwa kwa maanyi.

Bakkiriziganyizza okukolagana n’abakulembeze b’omu mawanga gano okulaba ng’entegeka z’amawanga gano okutambulira awamu mu by’ensimbi kutambula bukwakku. 

Ebimu ku bituukiddwako mu nkwatagana y’amawanga gano mu by’ensimbi kuliko; okutereeza ebikwata ku by’okuvungisa ensimbi zino okuva mu nsi emu okugenda mu ndala (exchange rates), amateeka agafuga Bbanka Enkulu mu mawanga gano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...