TOP

Ssaabalabirizi Ntagali alangiridde okuwummula mu March wa 2020

Added 27th August 2018

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali alangiridde nga bw’agenda owumummula emirimu gy’ekkanisa nga March 1, 2020.

 Ntagali ng’ayogera eri olukiiko lw’obusaabalabirizi olw’omulundi ogwa 24 olwatudde ku UCU wiiki ewedde. (EKif. Henry Nsubuga)

Ntagali ng’ayogera eri olukiiko lw’obusaabalabirizi olw’omulundi ogwa 24 olwatudde ku UCU wiiki ewedde. (EKif. Henry Nsubuga)

Ntagali ekyama kino yakibikkulidde olukiiko lw’obusaabalabirizi (provincial assembly) olw’omulundi ogwa 24 olwafundikiddwa ku UCU ku Lwokutaano.

Ntagali eyatuuzibwa nga December 16, 2012 ng’adda mu bigere bya Henry Luke Orombi yategeezezza nti ssemateeka w’ekkanisa abalagira okuwummula nga bawezezza emyaka 65 nga ye waakugiweza nga March 1, 2020 ng’era kw’olwo emirimu gye nga Ssaabalabirizi lw’ajja okugikomekkereza. Ntagali we butuukidde olwaleero nga yaakaweerereza emyaka 6 nga Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda.

Wabula yategeezezza nti akyalinayo omwaka nga gumu n’ekitundu mu buweereza obw’okubuulira enjiri n’okukulembera ekkanisa ya Uganda.

Ntagali yategeezezza nti musanyufu olw’ebintu ebingi Katonda by’asobodde okumukozesa mu myaka omukaaga gye yaakamala mu kifo kino.

Muno yanokoddeyo; okubuulira enjiri mu bantu bonna omuli n’abavubuka be yagambye nti bamuli ku mutima ssaako okulambula obulabirizi 37 bwonna.

“Ndi musanyufu okulaba nga Katonda ampadde amagezi okukulembera olukiiko lw’abalabirizi, abaawule, abasumba n’abakulisitaayo bonna okuva ebule n’ebweya,” bwe yalambuludde.

Yagasseeko nti era asobodde n’okutondawo obulabirizi obulala 3 okuli obwa Central Busoga, West Ankole ne Lango nga buno bwaleetera ennamba y’obulabirizi okuwera 37.

Yategeezezza nti mu bweyamo bwe yakola ng’atuuzibwa ku kifo kino, mwalimu okumaliriza Church House eyali emaze emyaka n’ebisuubo n’agamba nti kati omutima gumuli wamu kuba eno yagguddwawo ku Lwokutaano.

Kati natandika n’okumaliriza lutikko ya All Saints e Nakasero ng’eno egenda kuba etuuza abantu 5000 okugeza kw’eriwo kati etuuza abantu 500 bokka nga mu kadde kano abasinga basabira bweru mu weema ezateekebwawo.

“Nkyebaliza Katonda okulaba ng’ekkanisa ya Uganda yonna essa kimu ekitaaliwo gye buvuddeko nga mu bulabirizi obumu waliyookusika omuguwa,” bwe yagambye.

Ntagali ye mulabirizi w’obulabirizi bwa Masindi Kitara eyasooka nga yabuvaamu mu mwaka gwa 2012 bwe yalondebwa okusikira Henry Luke Orombi nga Ssaabalabirizi ow’omunaana.

Bp. Henry Katumba Tamale owa West Buganda yagambye nti wadde Ssaabalabirizi ky’akoze kye kirimu mu ssemateeka w’ekkanisa. Yagambye nti wadde ng’aba alina okumala emyaka 10 mu kifo kino, ssinga aweza emyaka 65 egy’obukulu, giri emyaka ekkumi ne bw’aba tannagiweza kiba kimukakatako okuwummula.

“Ndi musanyufu olw’obuweereza bwa Ssaabalabirizi Ntagali kuba nz’omu ku bibalabye kuba ye yantuuza ng’omulabirizi mu kisanja kye,” Katumba bwe yagambye.

Omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala yagambye nti ng’olukiiko lw’abalabirizi, bamativu n’obuwereza bwa Ssaabalabirizi Ntagali omuli emirimu egy’enjawulo gy’asobodde okukolera ekkanisa.

Ssebaggala yanokoddeyo eky’okusobola okumaliriza Church House, okulaba nga UCU ettandika okusomesa abasawo ekigenda okutandika omwaka guno, ssaako eky’okuba ng’eddwaliro ly’e Mengo eryatandikibwa ekkanisa waaliwo abantu bassekinnoomu abaali balyeddizza mu ngeri ey’olukujjukujju naye nga yasobola okulikomyawo mu mikono gy’ekkanisa.

Ate ye omulabirizi w’e Mukono eyawummula, Elia Paul Luzinda Kizito yategeezezza nti Ntagali by’akoze byeyogerera nga muno mwe muli okumalawo okuyombagana n’okwerumaaluma mu bulabirizi obwenjawulo omuli obwa West Ankole ne Kitigum nga kati teri buzibu bwonna.

“Omuwummula kwa Ntagali kyakusomooza eri abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo kuba ye akyenyumirizaamu. Naye tulabye ku bakulembeze abatayagalira ddala kuwulira ku kyakuwummula ng’abamu batuuka n’okussa emyaka oba okukyusa ssemateeka asobole okubongera omwagaanya okugenda mu maaso nga bakyafuga,” Luzinda bwe yannyonnyodde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...