TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri balooya ba Kayihura gye bapanze ne bamatiza kkooti y'amagye okumuyimbula

Engeri balooya ba Kayihura gye bapanze ne bamatiza kkooti y'amagye okumuyimbula

Added 28th August 2018

Balooya okusaba kw'omuntu waabwe okweyimirirwa basinze kukwesigamya ku kya bulamu nga bagamba nti, omuntu waabwe alina obulwadde obumuluma obumwetaagisa okugendako emitala w’amayanja ajjanjabibwe.

 Gen. Kale Kayihura kati alya butaala!

Gen. Kale Kayihura kati alya butaala!

BANNAMATEEKA mukaaga okuva mu Kampala Associated Advocates (KAA) bamatizza kkooti y'amagye n'ekkiriza okuyimbula omuntu waabwe , Gen.Kale Kayihura.

Bwe yalabiseweko mu kkooti ku Lwokutaano oluwedde, Lt. Gen. Andrew Gutti, ssentebe wa kkooti y’amagye yasomedde Kayihura emisango esatu okwabadde ogw’okulagajjalira eby’okulwanyisa omwali amasasi n’emmundu bye yawa basajja be ab’ekibiina kya Boda Boda 2010, ekyakulirwanga Abdullah Kitatta.

Emisango emirala kuliko ogw’okukozesa obubi ofiisi ye wamu n’eby’okulwanyisa ne bijaajaamizibwa n’ogw’okuwamba Abanyarwanda abanoonyi b’obubudamu okwali n’eyali omukuumi wa Pulezidenti Paul Kagame, Lt. Joel Mutabazi.

Balooya okusaba kw'omuntu waabwe okweyimirirwa basinze kukwesigamya ku kya bulamu nga bagamba nti, omuntu waabwe alina obulwadde obumuluma obumwetaagisa okugendako emitala w’amayanja ajjanjabibwe.

Ensonga endala gye bawadde kkooti ye y’okuba nti, omuntu waabwe amaze ebbanga ddene mu kkomera (ennaku ezikunukkiriza 80) nga tatwalibwa mu kkooti ekintu kye bagamba nti kityoboola eddembe lye ery’obuntu.

Mu mateeka agafuga ba Genero, ssinga okwatibwa n’osimbibwa mu kkooti y’amagye, omuntu yekka alina okukweyimirira naye alina kuba ku ddaala lya Genero ate nga okukweyimirira alina kusooka kusaba lukusa okuva eri akulira amagye (CDF) n’akukkiriza.

Emitendera gino gyonna, abagenda okweyimirira Kayihura baagituukirizza era nga ky’ekimu ku kisinze okuwa balooya be essuubi nti essaawa yonna yandikkirizibwa okuyimbulwa newankubadde nga waliwo ebigambibwa nti, waliwo emisango emirala kkooti gy’egenda okumuteekako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.