TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embeera ya bbebi w'omukozi wa Bukedde eyongedde okwonooneka: Atwalibwa Buyindi

Embeera ya bbebi w'omukozi wa Bukedde eyongedde okwonooneka: Atwalibwa Buyindi

Added 28th August 2018

BBEBI wa munnamawulire wa Bukedde Mahd Lusiba eyalwala obwongo abasawo ne bamusindika agende e Buyindi alongoosebwe obwongo embeera ye yeeyongedde okwonooneka, bazadde be ne basalawo bamutwale ku Ssande ya wiiki eno okusobola okutaasa obulamu bwe.

 Bbebi Alpha

Bbebi Alpha

Alfa Lusiba ow’omwaka ogumu n’ekitundu mu kiseera kino embeera ye yeeyongedde okubeera embi , ssenyiga n’okukolola bwe byeyongedde ekintu ekimukosa ennyo obwongo bwe.

Taata wa Alfa omukozi wa Bukedde, Mahd Lusiba yagambye nti tebalina kyakukola kabatwale omwana e Buyindi nga tannayonooneka bwongo ku ssente ze baakafunawo ng’eno abazirakisa bwe bagenda mu maaso n’okubasondera ku ssente kubanga ssente ezeetagibwa nnyingi, ziri mu bukadde 200.

Alfa waakulongoosebwa obwongo emirundi ena ku bukadde 200, nga kino kirina okukolebwa buli luvannyuma lwa myezi mukaaga. Era ssente ezitandikirwako zeetaagisa obukadde nga 70 wabula nazo zikyagaanye okuwera.

Ku Lwomukaaga oluwedde, omuyimbi Gravity Omutujju ne Spice Diana n’abalala beenyigidde mu kaweefube w’okwoza mmotoka ku Fusion Auto Spa e Munyonyo era mwavuddemu obukadde 10.

Omwana Alfa yali mulamu bulungi wabula emyezi ebiri emabega maama we yagenda okuzuukuka ekiro mu ttumbi ng’omwana yaziriise dda mu buliri.

Yatwalibwa mu ddwaaliro e Lubaga gye yamala ebbanga lya wiiki emu n’ennaku ssatu ne bamulemererwa ne bamusindika e Mulago.

Omwana ono waakutwalibwa mu ddwaaliro lya “Neurogen Brain And Spine Institute” e Buyindi abajjanjaba obulwadde bwa “Post Meningoencephalitis” wabula obuzibu tulina okukozesa obwangu ng’ate kyetaagisa ssente nnyingi.

Omwana ono yeetaaga emitwalo gya ddoola 48,000 ez’okumujanjaba emirudi ena mu myaka ebiri gattako ddoola 5,000, ez’okusula okumala omwezi mulamba nga bavudde mu ddwaaliro gye banaamala wiiki emu wabula nga balina okumuzzangayo okulaba abasawo okumala omwezi mulamba nga bali mu Buyindi.

Lusiba yagambye nti omuzirakisa asobola okuweereza obuyambi bwa ssente bwonna ku ssimu ya Lusiba 0703337432 ne 0774991228 oba akawunti nnamba mu mannya ga Lusiba Mahd Jamada

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...