TOP

Abaayimbuddwa ne bobi wine balojja

Added 29th August 2018

Abaayimbuddwa ne bobi wine balojja

 Kenneth Paul Kakande owa DP (ku ddyo) ng’akulisa Mabikke ekkomera.

Kenneth Paul Kakande owa DP (ku ddyo) ng’akulisa Mabikke ekkomera.

ABAMU ku bannabyabufuzi abaayimbuddwa ne Bobi Wine battottodde engeri gye baatulugunyiziddwa ne bategeeza nti bateekateeka okuwawaabira gavumenti olw’okutulunyizibwa obwereere n’okutyoboola eddembe lyabwe. Baagambye nti, baayise mu kaseera akazibu mu bbanga ery’ennaku 14 ze bamaze mu kaduukulu e Gulu gye baggalirwa nga baggyiddwa mu Arua gye baabakwatira nga August 13, 2018.

MWIRU AKYALOJJA Omubaka Paul Mwiru, yategeezezza nti abaserikale ab’eggye erikuuma Pulezidenti baamukuba nnyo nga bamubuuza amayitire ga Bobi Wine ne bamumenya n’omukono ogwa kkono.

Mwiru yagambye nti, akyebuuza ku balooya be ku ky’okutwala gavumenti mu kkooti kubanga baamutulugunyiza bwereere era alina obuvune ne munda mu lubuto n’ebitundu by’omubiri ebirala.

MABIKKE ALAZE EBIWUNDU Michael Mabikke yategeezezza nti, abajaasi baabasalako ku ssaawa nga 1:30 ez’olweggulo ne batandika okubakuba nga bababuuza ekyabaggye e Kampala okugenda okutabula akalulu mu Arua.

Olwo amasasi gaali gayiika ng’enkuba wakati mu kibooko okunyooka era Mabikke yannyonnyodde nti, yadduka ne yeekukuma wansi w’emmeeza kyokka ne bamukukunulayo.

Yategeezezza nti, ajjukira ng’akwatibwa we baamukubira bbatuuni omubiri gwonna, kibooko n’ebigala by’emmundu era bwe yayimbuddwa yatuukidde mu ddwaaliro abasawo ne bamutegeeza nti alina obuvune obw’amaanyi munda mu mubiri.

Mabikke yategeezezza nti, ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro bonna baakuh− haanyizibwa ne babavuga okubatwala e Gulu kyokka tagenda kwerabira kaseera ke baayitamunga babavuga mu ttumbi. “Ka bbaasi kaawaba ne kayingira ekisiko era Katonda yazza bibye. Jjukira nti twali twakubiddwa dda nga tewali atalina bulumi ku mubiri naye twatuuka e Gulu buli omu n’assa ekikkowe nti tuvudde magombe. Twali tukyali e Gulu ne baleeta omubaka Zaake nga yenna atonnya musaayi. Ono ffenna ye yatusinga okutulugunyizibwa.

Twasaba tutwalibwe mu ddwaaliro. Bwe bankebedde ne bazuula nti nafunye ekizibu mu bbunwe era ndi ku ddaggala wano w’ondabira lwakuba nneegumya,” Mabikke bwe yagambye.

Yategeezezza nti, ennaku 14 z’amaze e Gulu wadde famire ya byabufuzi naye zibakosezza era beeyongedde obuvumu. Yagambye nti, “Ate Gavumenti yeeyongedde kutusaanuula okukakasa nti ebikolwa eby’okutulugunya n’ekko byonna tubikomya.”

SSEBUWUFU AKAABA OBULUMI John mary ssebuwufu yagambye nti, yatwaliddwa mu kyuma ne bamukebera ng’awulira obulumi bumutta era ebyavuddeyo byamwewanisizza omutima. “Abasawo bahhambye nti, eggumba lyange erigatta ku mugongo lyakoseddwa era ssinga sifuna bujjanjabi bwanjawulo amangu ddala nkyayinza okufuna obulema bwennyini,” Ssebuwufu bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti, ye yakwatibwa emirundi ebiri; “Nasooka ne nkwatibwa ne Fred Nyanzi ng’obudde bukyali bwa ku makya kyokka olw’okuba twali tukwatiddwa bubi ne tusaba okugenda mu ddwaaliro era awo Nyanzi ye naddayo e Kampala. Nze nali namuziga y’okukwanaganya ebyokulonda byonna mu ‘kkampu’ ya Kas-siano Wadri era nga nvunaanyizibwa mu kusindika buli muntu w’agenda okukolera. Nali sisobola kudduka mu kalulu wadde nkubiddwa.

Ku ssaawa nga 4 :00 ez’ekiro enkeera ku lunaku lw’okulonda nga bannaffe baasuze mu kaduukulu era ng’akulira ebyokulonda amalirizza okulangirira akalulu, abaserikale bansalako ne bagamba nti nabadduseeko.

Abasajja bankwata bubi era baasooka kunteeka ku poliisi ye Arua. Bwe zaawera essaawa nga munaana ez’ekiro ne bankozesa sitaatimenti era ne banzisa mu kamotoka okuntwala e Ggulu.

Twatuuka ku ssaawa 12:00 ez’oku makya era essaawa za kkooti bwe zaatuuka ne bangatta ku bannange ne batutwala lumu ffenna mu kkooti, kyokka nzijukira nali mu bulumi obutagambika,” Ssebuwufu bwe yagambye.

POLIISI YE YAMPONYA - WADRI Kassiano Wadri yalombozze engeri gye yakwatibwamu n'engeri gye yawonamu okutulugunyizibwa obutafaanana nga Francis Zaake ne Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) abali ku bitanda.

Wadri eyazze ku Palamenti eggulo ku Lwokubiri okukola ku by’okulayizibwa obwedda buli mubaka amulabako ng’amugwa mu kifuba n’okumuyozaayoza okutuuka ku buwanguzi.

Obwedda ababaka ab’enjawulo babuuza Wadri engeri gye yawonamu kuba banne abamu nga Zaake ne Bobi Wine bakyali mu malwaliro. “Omukisa nnina gumu gwokka nti, abaserikale ba poliisi be bankwata, naye ssinga abakuuma Pulezidenti aba SFC be bankwatako ssinga nange ndi mu ddwaaliro kuba baatunoonyanga babiri ne Bobi Wine,” Wadri bwe yatandise okunyumya.

Yagambye nti, olunaku lwa Mmande olwalimu akavuyo lwamusanga ku Royal Hotel eri okumpi ne Pacific Hotel ababaka abasinga nga Bobi Wine gye baali bapangisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...