TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Zaake okugenda ebweru okujjanjabwa biwanvuye

Ebya Zaake okugenda ebweru okujjanjabwa biwanvuye

Added 29th August 2018

Ebya Zaake okugenda ebweru okujjanjabwa biwanvuye

 Omubaka Asuman Basalirwa looya wa Zaake ng’ala ebbaluwa ya poliisi eragira Zaake okutwalibwa e Mulago. Mu katono waggulu ye Zaake nga tanalwala.

Omubaka Asuman Basalirwa looya wa Zaake ng’ala ebbaluwa ya poliisi eragira Zaake okutwalibwa e Mulago. Mu katono waggulu ye Zaake nga tanalwala.

POLIISI ya Uganda ewanvuyizza eby’okutwala omubaka wa Munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi bw’eragidde aggyibwe e Lubaga bamutwale e Mulago asobole okukeberebwa abasawo ba Gavumenti. Poliisi yategeezezza nti, eyagala Zaake akeberebwe basawo ba Gavumenti e Mulago nga tebannaba kumukkiriza kugenda bweru kufuna bujjanjabi busingawo.

Grace Akullo akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi yawandiikidde eddwaaliro ly’e Lubaga ebbaluwa eriko ennaku z’omwezi nga August 26, 2018 ng’abalagira okutwala Zaake e Mulago eri abasawo abakugu bongere okumwekebejja kuba alina emisango egimuvunaanwa. Akullo yagambye nti, Zaake y’omu ku bantu 33 abanoonyerezebwako ku kukuba emmotoka ya Pulezidenti mu Arua nga August 13.

Oluvannyuma lwa poliisi okumutwala ku poliisi mu Arua yazirikirayo ekyabawaliriza okumutwala mu ddwaaliro lya Arua. Poliisi yagambye nti mu ddwaaliro gye yabulira oluvannyuma lw’okuggyibwayo abantu abatannategeerekeka era nga baamuggulako omusango gw’okutoloka ku poliisi nga August 17.

Kyokka akulira eddwaaliro ly’e Lubaga, Dr .Andrew Ssekitooleko eggulo yawandiikidde minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng ng’amutegeeza nti eky’okutwala Zaake e Mulago kyabadde tekyetaagisa. Yawabudde nti baafuna Dr. Mukasa eyava e Mulago n’amwekebejja era n’azuula nti omulwadde yali yakosebwa ku mutwe, mu bulago, emisuwa n’amagumba g’enkizi agaasesetuka era n’awabula atwalibwe ebweru w’eggwanga afune obujjanjabi obusingawo.

Dr. Micheal Mukasa ow’e Lubaga, mukugu mu by’enkizi naye yeekebejja omulwadde n’azuula obulwadde bwe bumu awamu n’obukosefu mu kugulu okwa ddyo. Bino we bijjidde ng’aba famire ya Zaake balindiridde bbaluwa okuva mu kakiiko ka Uganda Medical Board ekkiriza omuntu waabwe okutwalibwa emitala w’amayanja ajjanjabwe.

Dan Mugambwa, muganda wa Zaake yagambye nti, abasawo okuva mu Uganda Medical Board bazze babasuubizza okuggya okwebebejja omulwadde naye nga bwe batuuka ku ssaawa envannyuma nga beekuba n’okubagamba nti birimu ebyobufuzi. Mary Babirye Kabanda (mukazi/Masaka) omu ku bakola ku nsonga za Zaake eyasangiddwa mu e Lubaga eggulo yennyamidde olwa poliisi okwekiika mu nteekateeka z’okutwala omuntu waabwe ebweru ajjanjabwe.

Dr. Jackson Amone, omuwandiisi wa Uganda Medical Board yagambye nti ensonga y’obulwadde bwa Zaake tebannaba kugikolako kuba tebannafuna bbaluwa ennyonnyola mu bujjuvu ebikwata ku bulwadde obumuluma. Yagambye nti lipooti y’obulwadde erina kukolebwa abasawo mu ddwaaliro ly’e Lubaga era bamanyi bulungi engeri y’okukolamu lipooti eno, kye batannakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...