TOP

Balooya ba Kayihura boogedde

Added 29th August 2018

KAYIHURA olwayimbuddwa, abawagizi be naddala abooluganda ne batandika okuyimba obuyimba obusoomooza: “Bamutadde …eee..maama bamutadde, aloga aloge….. bamutadde maama bamutadde.. Tumukunde yeetuge…” Abajaasi abakuuma kkooti y’amagye e Makindye, baalabye kisusse ne bakoma ku bawagizi era awo kwe kusirika.

 Gen. Kayihura nga yaakafuluma mu kkooti.

Gen. Kayihura nga yaakafuluma mu kkooti.

Bamu beebazizza Katonda nti, ‘Katonda yeebale’ ate abalala nga bwe basaakaanya, okwebaza ssentebe wa kkooti okulaba amazima n’asala obwenkanya.

Bino byabaddewo oluvannyuma lwa Ssentebe wa kkooti y’amagye, Lt. Gen. Andrew Gutti okukkiriza Kayihura okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde kumi ezitali za buliwo n’abamweyimridde butaano buli muntu.

Kayihura yeeyimiriddwa abantu basatu okuli bannamagye babiri Maj. Gen. Samuel Kavuma ne Maj. Gen. James Mugira ssaako kizibwe we Rosemary Tumusiime omubaka w’ekibuga ky’e Ntebe.

Wadde nga Gutti teyakaluubirizza bannamateeka ba Kayihura, yamutaddeko obukwakkulizo mukaaga ng’amuyimbula obubiri bwe bwa ssente obukadde 10 ezize n’obutaano eza buli muntu mu butaliiwo.

l Yamulagidde obutafuluma Kampala na Wakiso nga tafunye lukusa lwa kkooti. lOkweyanjula mu kkooti buli Mmande esooka mu mwezi

lObutafuluma ggwanga nga tafunye lukusa lwa kkooti n’amagye lOkweyanjula buli kkooti w’emwetaagidde awatali kulemererwa.

Peter Kabatsi eyakulembedde bannamateeka ba Kayihura okuva mu Kampala Associated Advocates bwe yabadde ayanjula okusaba kw’okumweyimirira yagambye nti, Kayihura alina ekirwadde ekimulwa nga yeetaaga okugenda okulaba omusawo we ebweru w’eggwanga.

Yaganyi okwogera obulwadde obuluma Kayihura kyokka n’ategeeza nti, emu ku bbaluwa z’abasawo ba Kayihura zaabadde ziraga nti, ali Kenya era gyalina okugenda okumwebuuzaako.

Yasabye kkooti obutakwata paasipooti ya Kayihura kubanga yeetaaga okugenda ebweru w’eggwanga okujjanjabwa.

Mu nsonga ze yawadde mu kirayiro kye yakoze ekyasomeddwa mu kkooti yagambye nti, musajja mukulu wa myaka 62 ate mu mateeka, omuntu asusizza emyaka 60, tebagaana kumweyimrira.

Yagambye nti, alina amaka ku Ssekindi Road e Makindye, e Kashagama mu Lyantonde n’amaka amalala e Kisolo ku kyalo Nyakabare era tasobola kudduka naagamba nti, mwetegefu okugondera obukwakkulizo bwa kkooti bwonna obuba bumuteereddwaako.

Yagasseeko nti, muntu mukulu awerezza mu bifo eby’enjawulo eby’obuvunaanyizibwa okuli eky’omuduumizi wa poliisi kye yamalamu emyaka 13 era amanyi kye kitegeeza ku kakalu ka kkooti.

Kabatsi yagambye nti, munnamateeka omutendeke eyafuna diguli okuva e Makerere, diguli eyookubiri mu mateeka okuva mu London School of Economics e Bungereza ate mufumbo alina omukyala n’abaana.

Ku ssaawa nga 8:00 ez’emisana, Kayihura yafulumye ne mukyala we Angella Kayihura nga bw’awuubira ku bantu abaabadde bamulindiridde wabweru wa kkooti.

Yabadde musanyufu nnyo n’ababuuzaako n’alinnya mmotoka ne mukyalawe eyamututte mu maka ge e Makindye.

Bawagizi be baagenze bagoba emmotoka okutuuka ewuwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...