TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka abasukka 40 abaayooleddwa e Luweero ku bya Bobi Wine bakyali mu kkomera

Abavubuka abasukka 40 abaayooleddwa e Luweero ku bya Bobi Wine bakyali mu kkomera

Added 29th August 2018

ABANTU 46 abaayooleddwa poliisi ng'eri wamu n'amagye mu kibuga Luweero oluvannyuma lw'okukola effujjo ku luguudo nga baagala okulaba ku Bobi Wine eyabadde aggibwa mu kkooti e Gulu bagguddwako emisango egy'enjawulo.

Bya Samuel Kanyike          

ABANTU 46 abaayooleddwa poliisi ng'eri wamu n'amagye mu kibuga Luweero oluvannyuma lw'okukola effujjo ku luguudo nga baagala okulaba ku Bobi Wine eyabadde aggyibwa mu kkooti e Gulu bagguddwako emisango egy'enjawulo.

Kino kiddiridde ebikumi by'abantu okweyiwa ku mabbali g'oluguudo oluva e Gulu okudda e Kampala okwelorela ku Bobi Wine n'ababaka abalala poliisi n'ebagoba nga bakubira engoma mu kkubo nga bwe bazina ekyaddiridde kukuma bipiira n'ebagobaganya ng'ekozesa amasasi n'omukka ogubalagala.

Omwogezi wa poliisi mu Savana Paul Kangavve yagambye nti abaakwatiddwa be bamu ku baakubye abapoliisi ng'ebatangira okukola effujjo okwokya ebipiira mu lugoodo n'ebiti.

Abaayooleddwa omuli aba Bodaboda, saluuni, abaasangiddwa mu makubo n'abalala baabadde bakyakuumirwa mu kaduukulu ka poliisi e Luweero nga bwe balindirirwa okutwalibwa mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...