TOP

Nambooze atwalibwa South Africa

Added 2nd September 2018

Nambooze atwalibwa South Africa

 Aol Ochan (ku kkono) ng’ ali n’omubaka Betty Nambooze Bakireke bwe yabadde agenze okumulabako mu maka ge e Mukono.

Aol Ochan (ku kkono) ng’ ali n’omubaka Betty Nambooze Bakireke bwe yabadde agenze okumulabako mu maka ge e Mukono.

Omubaka Betty Nambooze agambye nti agenda mu South Africa okuddamu okufuna obujjanjabi mu ddwaaliro eddene era eririna obukugu mu kujjanjaba oluvannyuma lw’okutegeezebwa abasawo gy’abadde ajjanjabirwa nti bw’ataakikole embeera eyinza okusajjuka.

Nambooze okwogera bino, yasinzidde maka ge agasangibwa e Mukono mu Kavule, bwe yabadde akyaliddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Betty Aol Ochan, n’ategeeza nga bw’agenda okufuna obujjanjabi obusingako ku bumuweebwa wano mu Uganda kubanga bukya ava mu Buyindi embeera ye tekyukanga newankubadde aweebwa obujjanjabi.

“Ng’enda kweyongerayo mu South Africa nfune obujjanjabi obusingako kubanga nategeezeddwa nti obulwadde bwange bwetaaga eddwaaliro eririna ebyuma eby’amaanyi ebisobola okuzibukula emisuwa egitambuza omusaayi mu bitundu by’omubiri gwange ebyanafuna oluvannyuma lw’okukubibwa mu biseera bya Togikwatako mu palamenti omwaka oguwedde,”Nambooze bwe yagambye. Nambooze yagambye nti embeera eno, emuviiriddeko okuzimba omubiri gwonna ekireetedde n’abamu ku bantu okulowooza nti agezze olw’okubeera mu mbeera ennungi wabula nga tebamanyi buzibu bw’ayitamu n’obulumi obumuyitiriddeko.

Mu ngeri eno, Nambooze yalagidde omwogezi wa Gavumenti, Ofwono Opondo okumenyawo bye yamwogeddeko mu mawulire nti ababaka abamu nga Nambooze beetaaga okuleeta empapula eziraga nti ddala balwadde kuba alaba nga bbo abeekoza obwekoza. “Nsaba Ofwono Opondo ensonga z’obulwadde bwange n’ababaka okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu ne Francis Zaake okuziggyamu ebyobufuzi n’eby’olusaago kubanga kimukakatako okujja okutulambula alabe embeera gye tulimu akakasize ddala era ayawule wakati w’okwekoza n’obulwadde,” Nambooze bwe yategeezezza.

Yakwasizza Betty Aol Ochan obuvunaanyizibwa obw’okumuyamba okuteeseza Munisipaali ye ey’e Mukono mu bbanga ly’agenda okumala ng’ali mu South Africa. Ochan yasabye gavumenti okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’ababaka bano abayita mu bulumi baweebwa obuyambi okujjanjabwa mu mawanga ageebweru basobole okudda okuteeseza abantu baabwe ebinaabakulaakulanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...