
Pulezidenti Museveni, minisita Sam Kuteesa, mukyala we Janet Museveni n’omubaka wa Uganda e China, Crispus Kuyonga e China.
Olukung’aana luno oluyitibwa Forum on China-Africa Cooperation (FOCAC) lwakumala ennaku bbiri nga lwetabiddwaamu abakulembeze okuva ku lukalu lwa Afrika abatali bamu.
Olukuηηaana luno lusinga kwesigama ku ngeri amawanga mu Afrika gye gasobola okukolagana ne China mu byobusuubuzi, enguudo, amakolero, ebyamasannyalaze, emirimu n’ensonga endala ezisinga okuluma abantu ba Afrika.
Guno omulundi gwakusatu ng’abakulembeze ba Afrika ne China batuula okutema empenda okukulaakulanya Afrika ne China.
Olwasooka lwaliwo mu 2006 e Beijing mu China, olwaddako lwali South Afrika mu 2016 ate olwokusatu lwe lutandika leero.
Pulezidenti eyatuuse e China eggulo yawerekeddwaako mukyala we Janet Museveni, n’ayanirizibwa minisita w’ensonga z’ebweru Sam Kuteesa n’omubaka wa Uganda e China Crispus Kiyonga n’abakungu abalala.