TOP
  • Home
  • Masaka
  • Maama yeegasse n'abatuuze okujaganya olwa mutabani we eyattiddwa mu bubbi

Maama yeegasse n'abatuuze okujaganya olwa mutabani we eyattiddwa mu bubbi

Added 5th September 2018

"Mutuleke, twejaganyize oba mutwala mulambo gwammwe mutwale teri ajja guwondera anti ennaku z'omubbi ziba 40 n'eza Ssennyonyi ziweddeko agende asisinkane kkooti ya Katonda ameggane nayo ku gakolobero gaakoledde ku nsi,"abatuuze bwe baakinagguse.

 Poliisi y'e Lukaya mu Kalungu nga yeekebejja omulambo gwa Ssennyonyi eyattiddwa.

Poliisi y'e Lukaya mu Kalungu nga yeekebejja omulambo gwa Ssennyonyi eyattiddwa.

POLIISI mu Kalungu amagezi gakyagyesibye w'etandikira okuyigga abaatwalidde amateeka mu ngalo ne batemaatema omusajja n'ejjambiya n'okumukuba akakumbi ku mutwe ebyamuttiddewo. 

Olwamaze okumutta, omulambo ne bagusuula ku kkubo kyokka Poliisi eyaguddukidde byagiweddeko bwe yasanze nnyina n'abatuuze nga bajaganya nti bamuwonye.    Bino byabadde ku kyalo Lusango - Mulegeya e Bukulula mu Kalungu ng'eyattiddwa ye Vincent Ssennyonyi, 37.

Poliisi eyakuliddwa agitwala e Lukaya, ASP Viane Birungi yabadde esuubira okutandikira ku nnyina Betty Nakate 57, ng'agiwa amawulire ku baateeberezza okutta mutabani we.

Wabula nnyina Nakate, yakimazeeko poliisi  bwe yatuuse nga tanakuwadde wadde akatono oba okuwuliramu ekisa ky'obuzadde n'akabatema nti takirumamu kwebaza bamuwonyezza omutemu amujoonyeserezza ebbanga ng'amwegezaamu okumuttira mu nnyumba.

"Nnamudduka ne mpangisa akazigo era abadde tambuuza mpozzi olwaleero ku makya akedde n'ambuuzaako bwe nnasuze" Nakate bw'annyonnyola.

Agasseeko nti Ssennyonyi y'abadde akulira banne omukaaga b'azaala okuva omubereberye bwe yafa nti naye omuze gw'obubbi n'okunywa enjaga by'abaawukanya.

Abaakakiiko Yosam Wasswa ne Hajji Musirim Nnampagi baakakasizza Poliisi  nti Ssennyonyi abadde mubbi kkungwa, omukwasi w'abakazi n'obuwala obutanneetuuka ng'amakomera yagafuula maka ge.

Wabula mbega poliisi,  Isaac Nnamwanza bwe yababuuzizza ku baani abamulumiriza okubba balyoke bamutte, baategeezezza nti tebabamanyi.

Baategeezezza  nti baawuliddeko enduulu ng'eva ku kyalo ekirala eky'e Kisawo nga bateebereza nti gye baamutemedde n'adduka kiwalazzima okutuusa amaanyi n'omusaayi bwe byamuweddemu n'agwa ku kkubo n'afa.

"Mutuleke, twejaganyize oba mutwala mulambo gwammwe mutwale teri ajja guwondera anti ennaku z'omubbi ziba 40 n'eza Ssennyonyi ziweddeko agende asisinkane kkooti ya Katonda ameggane nayo ku gakolobero gaakoledde ku nsi,"abatuuze bwe baakinagguse.

Afande Birungi yavumiridde ekikolwa ky'abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo n'abalaalika nti nga Poliisi bagenda kusuulia enkessi okuzuula abasse Ssennyonyi.

Wadde abatuuze ne nnyina Nakate baasabye Poliisi obutatwala mulambo nti bagubawe baguziike kyokka baakigaanye ne bagussa ku kabangali eyagututte mu ddwaaliiro e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono