TOP

Bobi Wine bamukozeeko

Added 6th September 2018

MUKULU wa Bobi Wine, Fred Nyanzi gwe baakazaako erya ‘Chairman Nyanzi’ agambye nti mu kiseera kino abasawo mu America bamaze okumwekebejja okuzuula ebitundu ebyakosebwa era ne batandika okumujjanjaba amagumba.

Nyanzi yagambye nti ebyavudde mu musaayi n’ebikwata ku bitundu okugeza ng’ensigo tebinnaba kufulumizibwa nga mu kiseera kino bakyalinda ebinaavaayo.

Wabula kati bakyakola ku biwundu, amagumba n’ebinywa ebyakosebwa.

Omubaka Robert Kyagulanyi okugenda mu Amerika kyaddiridde okusalawo okugenda okujjanjabibwa olw’obuvune obwamutuusibwako bwe yali akwatibwa amagye omwezi oguwedde mu kalulu k’okulonda omubaka w’ekibuga Arua nga August 14, omwaka guno.

Nyanzi yagambye nti ku Lwokubiri nga beeyambisa tekinologiya owoomulembe, baakoze ku magumba g’omu kiwato ekimu ku bitundu by’abadde asinga okukaaba obulumi.

Yagambye nti mu kiseera kino embeera Bobi Wine gy’alimu teyeeraliikiriza wadde ng’alumizibwa naye balina essuubi nti ajja kuba bulungi.

“Njogeddeko ne Bobi antegeezezza nti buli kimu kitambula bulungi twongere okumusabira era n’okumulongoosa okwamukoleddwaako kwatambudde bulungi”, Nyanzi ataayagadde kwogera ddwaaliro Bobi Wine mw’ali olw’ebyokwerinda bwe yategeezezza eggulo ku ssimu.

Ku ky’ensigo Bobi z’abadde akaaba, Nyanzi yategeezezza nti, abasawo bakyazeekebejja okulaba oba ddala ziri mu mbeera mbi oba ekyetaagisa okufuna endala oba basobola okujjanjaba z’alina ne ziwona bulungi.

Mukulu wa Bobi omulala, Eddie Yawe, yagambye nti ebibadde byogerwa nti baamusanzeemu obutwa mu musaayi ssi bituufu kubanga ebyavudde mu musaayi tebinnamanyika, nti n’ekifaananyi ekiri ku mitimbagano ekiraga Bobi ng’ali mu byuma era ng’alabika ng’ali bubi si bituufu, bya bantu abazannya katemba.

N’asaba abantu baleme kuzannyira mu nsonga eno kubanga bagenda kuwubisa abantu era n’abasaba babeesonyiwe balinde ekiva mu bbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...