TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira ne by'azze akola ebimufudde owa poliisi ow'enjawulo

Kirumira ne by'azze akola ebimufudde owa poliisi ow'enjawulo

Added 9th September 2018

Kirumira yaweerereza ku poliisi ya Kampalamukadde ng’alina ejjinja limu we baamuggya okumuteeka ku poliisi ku kisaawe e Nakivubo.

 Omugenzi Kirumira

Omugenzi Kirumira

  • Kirumira yaweerereza ku poliisi ya Kampalamukadde ng'alina ejjinja limu we baamuggya okumuteeka ku poliisi ku kisaawe e Nakivubo.
  • Wano yakolawo okumala ekiseera ne bamuzzaayo ku kitebe e Kampalamukadde.
  • Yalinnyisibwa ku ddaala ne bamusindika e Nakulabye n'afufumya ababbi era eno yavaayo nga yeekokkola nti abagaba ebicupuli bamulimiridde mu bakama be ne bamukyusa.
  • Yasindikibwa e Kikaaya eno gye yataayiriza abavubuka ba Kasolo group era ajjukirwa ng'avuga akagaali ku Northern Bypass ng'agoba ababbi.
  • Oluvannyuma yasindikibwa e Nansana. l Nayo yavaayo ng'ababbi bamwasimula bugolo ne bamuzza mu Kisenyi ku poliisi ya Muzaana.
  • Oluvannyuma yaddizibwa e Nansana kyokka eno yafunirayo ebizibu ne bamuggalira era yasinziira mu kaduukulu e Nsambya n'ayogera n'abaamawulire ku ssimu.
  • Baamusindika n'addayo okutendekebwa e Jinja olwavaayo ne bamusindika e Kasese ku nsalo ya Uganda ne Congo.
  • Yakomezebwawo mu Kampala ng'afunye amayinja asatu n'afuulibwa omuduumizi wa poliisi ya Kampalamukadde gye baamuggye okumutwala e Buyende.
  • Poliisi yamuggulako emisango egyenjawulo n'akwatibwa n'aggalirwa e Nalufenya. Oluvannyuma emisango egisinga gyamuggyibwako era abadde akyogera lunye nti ye tajja kudda mu poliisi agenda kuyingira byabufuzi zeesimbewo avuganye mu kifo ky'omubaka wa Palamenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...