TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abafamire y'omuwala eyafudde ne Kirumira batabukidde poliisi: 'Mujooga ani?'

Abafamire y'omuwala eyafudde ne Kirumira batabukidde poliisi: 'Mujooga ani?'

Added 12th September 2018

ABAKUNGUBAZI beegugunze mu kuziika omukazi Resty Mbabazi Naalinya 26, gwe basse ne Kirumira.

Abakungubazi mu kusabira omubiri gwa Mbabazi. Mu katono nga bw’abadde afaanana.

Abakungubazi mu kusabira omubiri gwa Mbabazi. Mu katono nga bw’abadde afaanana.

Batabuse ne basooka bazirira poliisi amabugo ge babadde batutteyo era waabaddewo akasattiro ng’abantu bagezaako okukkakkanya abooluganda bano.

Omuduumizi wa poliisi mu Katonga SSP Francis Chemusto, yatuuse mu kidaala nga bali mu kusaba n’atuula kumpi ne Aloysius Kaitale (taata w’omugenzi).

Chemusto yasoose kwogera butonotono oluvannyuma n’akwata ebbaasa okugikwasa Kaitale eyawuubye omukono mu busungu n’akuba ebbaasa n’egwa wansi.

Chemusto nga yeebwalabwala yalonzeewo ebbaasa.

Abakungubazi abaabadde okumpi ne Kaitale, baamuwooyawooyezza ne bamukakkanya n’akkiriza okugikwata wakati mu kwemulugunya nti bamuttira batya omwana we ate ne bamuleetera ssente.

Okuziika kwabadde Mpanga mu Ggombolola y’e Mpenja e Gomba ku Mmande.

Kirumira ng’avudde ku mikolo gye yabaddeko ku Lwomukaaga, olwatuuse mu kitundu w’asula n’akwatagana ne Mbabazi era abatemu we bajjidde okumukuba amasasi ng’ali naye mu mmotoka gy’abadde avuga nnamba UAJ 228V.

Battiddwa mu kifo ekiriraanye akaduuka ka Mobile Money, Mbabazi mw’abadde akolera.

ABOOLUGANDA LW’OMUGENZI BATADDE AKAKA

Abooluganda lw’omugenzi nga bakulembeddwaamu kansala wa Nsamba Central, Sania Namukasa baatabukidde Gavumenti nga bagamba nti abantu bangi ennaku zino bakaalakaala n’emmundu n’okutta abantu kyokka Gavumenti n’ekanya kuwaayo mabugo nga tegonjodde buzibu we buvudde.

Namukasa yagambye nti ennaku zino omuntu avaayo n’alaga obulumi bw’alina ku mutima y’attibwa! Kyokka Gavumenti n’ewoza nti enoonyereza ku kivuddeko ettemu.

BEEGAANYI EYEEYISE BBA W’OMUGENZI

Agnes Nakimbugwe muganda w’omugenzi yategeezezza nti, Ali Mabira eyavuddeyo ne yeeyita bba wa Mbabazi bbo babadde tebamumanyi kubanga taata w’abaana ba Mbabazi gwe bamanyi ye Benon Mayambala ow’e Kinaawa gw’abadde yaakaawukana naye n’asalawo okwepangisiza.

Basambazze ebigambibwa nti Mbabazi abadde muganzi wa Kirumira ne bategeeza nti babadde bakolagana mu bintu birala era ne we baamukubidde amasasi, emmotoka ya Kirumira yabadde yaakagituulamu.

Mbabazi alese abaana babiri okuli ow’emyaka esatu n’ow’emyaka etaano nga bano basigadde ne kitaabwe era ne basaba Gavumenti ebeeko ky’ekolera abaana bano kubanga maama waabwe y’abadde abalabirira.

Nakimbugwe yayongeddeko nti maama waabwe Frediana Kyalimpa, yalwala omutwe n’atabuka era ng’omugenzi y’abadde amulabirira ne kitaawe Kaitale ng’akozesa obusente bw’abadde aggya mu Mobile Money e Bulenga.

Bakira taata w’omugenzi Aloysius Kaitale y’akubirira abakungubazi okukuuma emirembe nga bagezaako okugaana abantu abawagira NRM okwogera.

Obwedda abagamba nti, “Bwe muleetawo okwekalakaasa, tugenda kufuna ebizibu ebirala kubanga ennaku zino buli awabeera akanyolagano wabaawo abafiirawo n’abanyiga ebiwundu.”

BANNAGOMBA BANYIIVU KU BAANA BAABWE ABATTIBWA N’OKUTULUGUNYIZIBWA

Abatuuze b’e Gomba balaze obutali bumativu ku baana baabwe ababiri abakubiddwa amasasi ne battibwa mu kiseera kitono.

Vicent Sserungaya eyattibwa e Bukalagi mu kwekalakaasa kwa Bobi Wine ne Mbabazi be basinze okutabula abantu nga ku bano baagasseeko n’omubaka Bobi Wine gwe bagambye nti yatulugunyizibwa.

ABAKUNGUBAZI BANG’ODDE RDC

RDC wa Gomba Fred Nayebale yatandise okwogera eri abakungubazi okubawa obubaka bwa Pulezidenti ng’abantu basirise kyokka bwe yakoonye ku ky’abavubuka abeekalakaasa nga bayimba mbu ‘People Power’ abantu ne batabuka era tebazzeemu kumuwuliriza okutuusa bwe yamaze okwogera nga bamung’oola bung’oozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....