TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mufti akukkulumidde amagye okumugaana okulaba Kitatta

Mufti akukkulumidde amagye okumugaana okulaba Kitatta

Added 13th September 2018

AMAGYE gagaanyi Mufti wa Uganda, Sheikh Ramadhan Shaban Mubajje okulaba Abdallah Kitatta mu kkomera e Makindye gye yaggalirwa, n’avaayo ng’akukkuluma.

 Mufti Mubajje (ku kkono) ne Hajji Ramathan Mugalu nga bawuliriza puliida wa Kitatta, emmanuel turyomwe oluvannyuma lw’okubalemesa okulaba Kitatta eggulo. Mu katono y’ebbaluwa eyabawadde olukusa okugenda okumulaba.

Mufti Mubajje (ku kkono) ne Hajji Ramathan Mugalu nga bawuliriza puliida wa Kitatta, emmanuel turyomwe oluvannyuma lw’okubalemesa okulaba Kitatta eggulo. Mu katono y’ebbaluwa eyabawadde olukusa okugenda okumulaba.

Mufti Mubajje bw’abadde ayogerako ne Bukedde yategeezezza nti yatudde ne Bamasheikh abalala ne bakkaanya okwerondamu abantu musanvu bakyalire abasibe bonna abali mu makomera okuli ne Abdallah Kitatta, eyasibirwa e Makindye n’abalala okuli Sheikh Muhammad Kamoga, Jamir Mukulu n’abalala abali e Luzira n’e Kirinnya mu Jinja.

Yagambye nti, “Bwe twavudde mu lukiiko olwakkiriziganyizza ku bye twasazeewo, nayogedde ne ssentebe wa kkooti y’amagye, Lt. Gen. Andrew Gutti era n’antegeeza nti tewali buzibu bwonna kuba ddembe lyaffe okulaba omusibe ssinga tugenda ne munnamateeka wa Kitatta.”

Eggulo (ku Lwokusatu) zaagenze okuwera essaawa 6:00 ez’omu ttuntu nga Mubajje ne banne okwabadde Sheikh Sulaiman Kakeeto, Hajji Ramathan Mugalu, Hajji Nsereko Mutumba, Sheikh Mugerwa owa Hijja n’abalala nga bataka ku nkambi y’amagye e Makindye.

Mufti yagambye nti, bwe baayingidde enkambi beeyanjulidde abaserikale era ne babategeeza nga bwe baabadde bagenze okukyalira Abdallah Kitatta kubanga lwabadde lunaku lwa kukyalira basibe mu makomera ag’enjawulo.

“Abajaasi baategeezezza kamanda w’enkambi n’atulagira okugenda tusooke tufune olukusa mu buwandiike okuva ewa Gutti era munnamateeka n’agenda n’afuna ebbaluwa eyo n’agireeta,” Mubajje bwe yategeezezza.

Mufti Mubajje yagambye nti, newankubadde baalinze okumala essaawa, n’ebbaluwa n’etwalibwa ew’akulira enkambi, yabagaanyi okulaba Kitatta nga tabawadde nsonga yonna.

Mubajje yakiise ensingo n’agamba nti, okumugaana okulaba Kitatta si bwenkanya ng’abantu abalala bonna babadde bakkiriziddwa okulaba be baabadde baagala.

Ku Ssande mu kusaalira Muhammad Kirumira eyakubiddwa amasasi, Mubajje yakunze Abasiraamu okuwanika emikono basabire eggwanga lino olw’ebikolwa ebitali bya buntu ebigenda mu maaso mu ggwanga omuli okutemula abantu, omuli ne bamaseeka.

Mufti yanokoddeyo amannya g’Abasiraamu ab’enjawulo abali mu makomera era ng’eno y’emu ku nsonga eyabawalirizza ng’abakulembeze b’Obusiraamu okutandika okulambula abasibe bano nga baakutalaaga amakomera gonna.

Wabula omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti yabadde tannafuna kumanyisibwa kwonna nti Mubajje yabadde agaaniddwa.

Mubajje mu kkomera yabadde agenzeeyo ng’omukulembeze w’Obusiraamu wadde nga Kitatta yawasa omu ku bawala be.

Kitatta yakwatibwa nga July 20, 2018 okuva ku Vine Hotel e Wakaliga n’aggulwako emisango mu kkooti y’amagye omuli egy’okusangibwa n’emmundu, amasasi n’ebyambalo by’amagye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kigonvu (ku ddyo) ng'annyonnyola omuserikale ebikwata ku ttaka lino.

Omusika atabuse ne nnyina l...

WAABADDEWO akasattiro ku kyalo Kabuuza e Matugga mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, abaana b’omugenzi...

Abamu ku batembeeyi nga batadde emmaali yaabwe wabweru w’amaduuka agaliraanye ekibangirizi ky’omu Kikuubo mu Kampala.

Abasuubuzi boogedde bwe bak...

ABASUUBUZI b’omu Kampala abeegattira mu bibiina ebyenjawulo beekokkola embeera ey’ebyobufuzi eriwo naddala ebyokulonda...

Hudu Hussein eyalondeddwa okubeera omubaka wa pulezidenti mu Kampala.

Nsookera ku kugatta Bannaka...

HUDU Hussein eyalondeddwa ku bwa RCC wa Kampala agambye nti ky’atandikirako kwe kugatta Bannakampala bave mu njawukana...

Looya Fred Muwema ng’aliko by’annyonnyola Ham (wakati) bwe baabadde ku kkooti ejulirwamu eggulo.

Kkooti egobye okusaba kwa B...

KKOOTI ejulirwamu egobye okusaba kwa Bbanka enkulu (BOU) mw’ebadde eyagala okugattibwa ng’abatalina ludda mu musango...

Minisita Ssempijja e Lukaya ng’ayogera eri abawagizi be.

Minisita Ssempijja akyayomba

MINISITA Vincent Bamulangaki Ssempijja eby'okumukuba akalulu byongedde okumutabula. Okuva lwe yawangulwa, anenyezza...