TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olwafuna olubuto baze n'aleetanga abakazi mu nju

Olwafuna olubuto baze n'aleetanga abakazi mu nju

Added 15th September 2018

OMUYIMBI Samalie Matovu yabiraba nti Omukwano gunyuma bwe guba gutandika so bwe gukula gumanyi okubowamu… naye nange embeera eno entuukiddeko.

Twasisinkana ne Nicholas ne twagalana era ne tutandika okubeera ffenna. Nga nnaakatandika okubeera naye twasooka kubeera mu ssanyu ng’afaayo okuntuusaako buli kye namusabanga era ng’andabirira bulungi.

Bwe nafuna olubuto yasooka n’afaayo wabula bwe lwaweza emyezi mukaaga n’atandika okuntulugunya. Yatandika mpola nga tanfaako ekyaddirira butagula mmere waka ne nzira mu kusabiriza balamu bange ne maama wange awamu ne muganda wange.

Ekiseera kyatuuka n’atandika okuyingiza abakazi mu nnyumba nga nsangamu ebintu omuli obusanirizo bw’abakazi obutali bwange, obutambaala, obuwoowo bw’abakyala n’ebirala ekyandabula ne mmanya nti ayingiza abakazi mu nnyumba.

Natandika okumugambako okukomya okuyingiza abakazi mu nnyumba wabula buli lwe nakyogerangako ng’ayomba n’okwagala okunkuba okutuusa lwe nnabivaako. Ekiseera kyatuuka n’atandika okukomawo amatumbi budde ate olumu nga takomawo.

Bino byannumanga naye nga sirina kyakukola kubanga nali nnina olubuto nga sirina gye nsobola kulaga nga ndi muzito kubanga kyali kinswaza okugenda mu bazadde bange kuba n’omusajja baali tebamumanyi.

Olumu nnali neekebejja mu bintu mu nnyumba ne ngwa ku biwandiiko ebyali biraga nti omusajja yafuna obulwadde ne nneekanga nnyo era ne nfuna okutya kuba omusajja ono yali taking’ambangako.

Nange nagenda mu ddwaaliro ne nneekebeza wabula eky’omukisa abasawo bantegeeza nti ndi mulamu bulungi era sirina bulwadde .

Kino nakikola emirundi ena okukakasiza ddala. Oluvannyuma namubuuza lwaki teyambuulira nti alina obulwadde era okuva olwo yafuuka mukambye nnyo gyendi n’okusinga bwe yali era n’atandika okunvumanga buli lunaku ne yeeyongera n’okwenda .

Okuva olwo teyaddamu kumpa kintu kyonna era bwe nnamusaba ssente ez’okundabirira yatandika okungamba olubuto nduggyemu nti kuba omwana tamwetaaga.

Oluvannyuma nazaala omwana wa buwala nga kati awezezza omwaka gumu n’ekitundu .

Ebisale by’eddwaaliro abooluganda lwange be baabisasula ne banzigya mu ddwaaliro.

Kati mbeera ne mulamu wange era y’annyamba okundabirira n’omwana wabula naye enfuna ye ntono tajja kubeera nange bbanga lyonna.

Sirina mulimu gwonna gwe nkola nga nsaba omuntu yenna alina omulimu oba alina obuyambi ankubireko oba abuweereze ku ssimu eno 0759679927.

 

 

 

 

 

 

 

 

OMUYIMBI Samalie Matovu yabiraba nti
Omukwano gunyuma bwe guba gutandika
so bwe gukula gumanyi okubowamu…
naye nange embeera eno entuukiddeko. Nze
Peace Asimye, 23, nga mbeera Namasuba.
Twasisinkana ne Nicholas ne twagalana era
ne tutandika okubeera ffenna. Nga nnaakatandika
okubeera naye twasooka kubeera
mu ssanyu ng’afaayo okuntuusaako buli kye
namusabanga era ng’andabirira bulungi.
Bwe nafuna olubuto yasooka n’afaayo
wabula bwe lwaweza emyezi mukaaga
n’atandika okuntulugunya. Yatandika mpola
nga tanfaako ekyaddirira butagula mmere
waka ne nzira mu kusabiriza balamu bange
ne maama wange awamu ne muganda
wange.
Ekiseera kyatuuka n’atandika okuyingiza
abakazi mu nnyumba nga nsangamu
ebintu omuli obusanirizo bw’abakazi
obutali bwange, obutambaala, obuwoowo
bw’abakyala n’ebirala ekyandabula ne
mmanya nti ayingiza abakazi mu nnyumba.
Natandika okumugambako okukomya
okuyingiza abakazi mu nnyumba wabula
buli lwe nakyogerangako ng’ayomba
n’okwagala okunkuba okutuusa lwe
nnabivaako.
Ekiseera kyatuuka n’atandika okukomawo
amatumbi budde ate olumu nga takomawo.
Bino byannumanga naye nga sirina kyakukola
kubanga nali nnina olubuto nga sirina
gye nsobola kulaga nga ndi muzito kubanga
kyali kinswaza okugenda mu bazadde bange
kuba n’omusajja baali tebamumanyi.
Olumu nnali neekebejja mu bintu mu
nnyumba ne ngwa ku biwandiiko ebyali
biraga nti omusajja yafuna obulwadde ne
nneekanga nnyo era ne nfuna okutya kuba
omusajja ono yali taking’ambangako.
Nange nagenda mu ddwaaliro ne nneekebeza
wabula eky’omukisa abasawo bantegeeza
nti ndi mulamu bulungi era sirina
bulwadde . Kino nakikola emirundi ena
okukakasiza ddala.
Oluvannyuma namubuuza lwaki teyambuulira
nti alina obulwadde era okuva olwo
yafuuka mukambye nnyo gyendi n’okusinga
bwe yali era n’atandika okunvumanga buli
lunaku ne yeeyongera n’okwenda .
Okuva olwo teyaddamu kumpa kintu
kyonna era bwe nnamusaba ssente
ez’okundabirira yatandika okungamba
olubuto nduggyemu nti kuba omwana
tamwetaaga. Oluvannyuma nazaala omwana
wa buwala nga kati awezezza omwaka gumu
n’ekitundu .
Ebisale by’eddwaaliro abooluganda
lwange be baabisasula ne banzigya mu
ddwaaliro. Kati mbeera ne mulamu wange
era y’annyamba okundabirira n’omwana
wabula naye enfuna ye ntono tajja kubeera
nange bbanga lyonna.
Sirina mulimu gwonna gwe nkola nga
nsaba omuntu yenna alina omulimu oba
alina obuyambi ankubireko oba abuweereze
ku ssimu eno 0759679927.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...