TOP

Sipiika asiimye emirimu gya muka Makubuya

Added 16th September 2018

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga agambye nti wa kutwalira Gavumenti ekirowoozo ky'okusiima emirimu gy'omugenzi Stella Nansikombi Makubuya olw'okulwanirira eddembe ly'abakyala mu ggwanga.

 Katikkiro Mayiga, Nnabagereka, Sipiika Rebecca Kadaga, Omumyuka ow'okusatu owa Katikkiro Apollo Makubuya ( ku ddyo) nga bali mu kusabira omwoyo gw'omugenzi.

Katikkiro Mayiga, Nnabagereka, Sipiika Rebecca Kadaga, Omumyuka ow'okusatu owa Katikkiro Apollo Makubuya ( ku ddyo) nga bali mu kusabira omwoyo gw'omugenzi.

Bino Kadaga yabyogedde ku Lwokutaano akawungeezi mu kusaba okwategekeddwa okwebaza emirimu gy'omugenzi mu maka gaabwe e Lubowa - Kyaddondo n'agamba nti omugenzi abadde mulwanirizi kayingo ow'ensonga z'abakyala.

"Abadde mulwanirizi wa nsonga z'abakyala era mmujjukira ng'atambula amadaala ga Palamenti ku nsonga ez'enjawulo nga yatuyamba nnyo naddala mu tteeka ly'obutabanguko mu maka.

Yalaze obwennyamivu nti tasiimwanga Gavumenti, hhenda kutuusa ekirowoozo kino tulabe ng'emirimu gye gisimibwa," Kadaga bwe yategeezezza.

Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga yagumizza Omumyuka we Owookusatu Apollo Makubuya n'abaana olw'okufiirwa kuno n’abasaba basigale nga balina essuubi kyokka n'akubiriza ne mikwano gya famire eno obutagirekerera.

"Olina emikwano mingi era ngisaba gireme kukulekerera naddala mu kiseera nga tumaze okuziika kubanga kye kisinga okuba ekizibu nga mukomyewo awaka ng'enju ebatunulira", Mayiga bwe yagambye.

Okusaba kuno kwakulembeddwaamu Omulabirizi wa West Buganda Katumba Tamale eyakubirizza abantu okukola ennyo kyokka nga bamanyi nti, Katonda ye musazi w’omusango asembayo.
 
Okusaba kwetabiddwaako Nnaabagereka, olulyo olulangira, Abalamuzi ku mitendera gyonna mu ggwanga, Baminisita ba Kabaka n'abaami ku mitendera egy'enjawulo.
 
Nansikombi Makubuya yaziikiddwa e Matugga mu disitulikiti y'e Wakiso mu Kyadondo olunaku Lwomukaaga ng'ono yafa nga September 6, mu America gyeyatwalibwa okujjanjabibwa kookolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...