TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Azaala omuwala eyattiddwa ne Kirumira atabuse omutwe: 'Ndabye n'omwana wange'

Azaala omuwala eyattiddwa ne Kirumira atabuse omutwe: 'Ndabye n'omwana wange'

Added 16th September 2018

YASOOSE kufuna kyebikiro n’alinnya takisi kipayoppayo okugenda ewaabwe e Gomba. Olwatuuse n’akung’aanya famire ye yonna n’ayita omukubi w’ebifaananyi ku kyalo n’abakuba ebifaananyi.

Resty Nalinnya Mbabazi eyabadde omusanyufu ebitagambika yategeezezza bazadde be nti azze kubalabako kuba abadde ‘abamiisinga’.

Wakati mu ssanyu, ate yeekyusizza n’abasiibula nti addayo mangu e Kampala okubaako by’amaliriza.

Abazadde abaabadde mu ssanyu muwala waabwe okubakyalira mu ngeri y’ekibwatukira ng’alagaanyizza n’okusula baasobeddwamu bwe yeekyusizza.

Luno lwabadde Lwakusatu akawungeezi n’asiibula n’adda e Kampala, abazadde bazzeemu kuwulira ababikira nti Nalinnya akubiddwa amasasi ku Lwomukaaga ekiro ze nnaku bbiri ng’abasiibudde.

Bwatyo Alozio Kaitale (66) bw’ajjukira ennaku ezaasembyeyo nga muwala we Resty Mbabazi Nalinnya (25) tannatemulwa e Bulenga bwe yabadde n’eyaliko DPC wa Buyende, ASP Muhammad Kirumira.”

Kati nkakasizza muwala wange yabadde azze kutusiibula. Kuba engeri gye yatukung’anyizza wakati mu ssanyu, n’ayita owa kkamera n’atukuba ekifaananyi n’ankolera n’ebintu ebirala, yabadde aleka bijjukizo n’okutusiibula mu butongole,” bwatyo taata bw’akakasa wakati mu kukaaba.

Twamusanze ku kyalo Mpanga mu Gomba n’atubuulira engeri gy’atobye ne muwala we okuva mu buto okutuusa lwe yatemuddwa mu ntiisa.

Y’ABADDE AJJANJABA NNYINA EYALWALA

Mzee Kaitale yagambye nti mukyala we Frediana Kyalimpa (Maama w’omugenzi Mbabazi) okuva lwe yalwala omutwe muwala we abadde yamuteeka ku ddagala lya mitwalo 20 buli wiiki bbiri era nti abadde agenda atereeramu.

Ssente zino Nalinnya abadde azisobola kuba bizinensi ye eya mobile money ebadde ekola. Ayongerako nti okuva Mbabazi lwe yattiddwa, nnyina yeeyongedde okutabuka n’agaana okulya era nga kati asula ababuuza ekyasse omwana we.

‘‘Nga ndabye n’omwana wange.” Beeralikirivu ekinaddirira kuba maama yatabuse. Nalinnya bwe yayawukana ne bba Mayambala, yasigala atoba n’abaana be ab’ekikazi era y’abadde abaweerera n’okubalabirira. Abaana kuliko omukulu Ssebasitian Kaweesi Saabwe (5) ne Angelina Nabumba(3).

MBABAZI BY’AYISEEMU MU BULAMU

Mbabazi yazaalibwa mu 1993 e Mpanga mu ggombolola y’e Mpenja mu Gomba kyokka bwe yamaliriza P7 fiizi ne ziggwaawo n’ajja mu kibuga e Kampala okutandika obulamu.

Yatuukira wa mukulu we Gertrude Nakale mu Ndeeba n’afuna ogw’okutunda edduuka e Katwe.

Ku mulimu gye yafunira omusajja Benon Mayambala eyamuwasa n’amutwala mu makaage e Kinaawa. Obufumbo buno yazaalimu abaana babiri naye ne bafuna obutakkaanya ne bba ne baawukana.

Yaddayo ewa mukulu we eyali asengukidde e Makindye n’amuyambako okutunda edduuka lye. Bino byaliwo mu 2015. Obulamu bwali buzibu ng’anoonya kapito naye atandike okwekozesa naye nga ssente teziwera.

Oluvannyuma mukulu we omulala gw’addako Godfrey Ssekibuule yali yagenda ku kyeyo e Dubai n’atandika okumuweereza ku ssente.

Yamuweereza ssente n’atandikawo bizinensi ya mobile money e Bulenga. Bizinensi yatandika okufuna n’apangisaayo akayumba mw’asula ewa mukulu we e Makindye n’avaayo. Wano ku mulimu w’abadde akolera we yamanyiganira ne Afande Kirumira era we baamutemulidde e Bulenga.

 

Y’ABADDE ALABIRIRA FAMIRE MU KYALO

Taata yagambye nti Nalinnya abadde akekkereza ku katono k’afuna n’aweereza mu kyalo ebintu ebibabeezaawo.

Ekyewuunyisa, ku mulundi guno bwe yabadde asiibula ate bye yabawadde byasusse ku bya bulijjo by’abawa bbo ne balowooza nti muwala waabwe kati bizinensi ye egaziye era etandise okumufunira.

Sso yabadde abawa ebisembayo mu bulamu bwabwe.

YALESE ASASUDDE BULOOKA NG’ATEGEKA KUZIMBIRA BAZADDE BE

Kaitale agamba nti Mbabazi abadde yateekako abakozi abakuba bbulooka nga ategeka okuzimbira bazadde be ennyumba.

Kw’olwo lwe yasembayo okugendayo yabasasula ensimbi ezaali zibulayo n’aleka ng’abalagidde okutandika okusomba amatoffaali okugatwala awagenda okuzimbibwa.

Ayongerako nti babadde balina omukolo gwa muwala we omulala gwe bategeka mu maaso Nalinnya kwe kusalawo okubazimbira ennyumba enaabaweesa ekitiibwa kyokka ne bamutemula nga tannakituukiriza.

NALINNYA GWEYASEMBYE ]OKWOGERA NAYE AYOGEDDE

Nalinnya lw’attibwa yabadde yaakawukana ne mukulu we Lawrence Kalema era yasoose kuwakana nga bamubikidde.

Kalema yagambye nti yasoose kukubira Mbabazi ssimu ku saawa mwenda ez’olweggulo ku Lwomukaaga lw’attibwa ng’alina by’ayagala bateeseeko era Resty n’amusaba basisinkane e Bulenga ku mulimu.

Yamusanga tali mu muudu ne boogeramu katono ne bakkaanya okusisinkana wiiki eddako battaanye ensonga naye waayise essaawa bbiri ne bamubikira nti mutoowe atemuddwa.

AFUDDE N’EBBANJA LYANGE - LANDILOODI

Landiroodi wa Resty amanyiddwa nga Yudah Kitandwe e Bulenga A yategeezezza nti omugenzi we yafi iridde abadde alina ssente z’abadde amubanja n’ategeeza nti ekisinga okumweraliikiriza kwekuba nti aboologanda lw’omugenzi tebannafuna kirowoozo kya kusengula bintu mu nnyumba kye yagambye nti kyakumufi iriza ssente ze yandifunye mu nnyumba ye.

Omugenzi Resty, Kitandwe yamwogeddeko ng’omuntu abadde ow’emirembe atalina mutawaana na muntu yenna mu bbanga ery’emyaka ebiri gy’abadde amaze ng’amupangisa ku nnyumba ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...