TOP

Kabaka ajjukidde nnyina

Added 17th September 2018

Abambejja abalala okwabadde Dina Kigga ne Dorothy Nassolo baayogedde ku nnyaabwe ng’omukyala eyali omulungi lwondo ate ng’alina ekisa ekitiiriika ng’omubisi gw’enjuki.

 Kabaka, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Margaret Siwoza (ku ddyo wa Kabaka), aboolulyo Olulangira n’abalala mu Lutikko e Namirembe eggulo oluvannyuma lw’okusaba okw’okujjukira nnyina ne bakadde be abalala.

Kabaka, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Margaret Siwoza (ku ddyo wa Kabaka), aboolulyo Olulangira n’abalala mu Lutikko e Namirembe eggulo oluvannyuma lw’okusaba okw’okujjukira nnyina ne bakadde be abalala.

Bya MOSES KIGONGO
KABAKA yeetabye mu kusaba okw’okujjukira maama we omugenzi Namasole Sarah Nalule Kisosonkole mu Lutikko e Namirembe eggulo.
 
Kabaka Mutebi eyabadde ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda yatuuse ku ssaawa 5:00 ez’oku makya ne yeegattibwako abaana b’Engoma okwabadde omulangira Richard Ssemakookiro eyabadde anekedde mu ssuuti eya kikuusikuusi nga ku ssaati enjeru
ng’omuzira tataddeeko ttaayi, Jjunju Ssuuna Kiweewa, Joan Nassolo ne Victoria Nkinzi.
 
Okusaba kwakulembeddwa omulabirizi w’e Namirembe Bp. Wilberforce Kityo Luwalira
eyabuuliridde abazadde ku nkuza y’abaana ey’obuvunaanyizibwa.
 
Omukolo guno gwetabiddwaako abalangira n’abambejja abaakulembeddwa David Wasajja ne Nnaalinnya Margaret Siwoza.
 
Abambejja abalala okwabadde Dina Kigga ne Dorothy Nassolo baayogedde ku nnyaabwe ng’omukyala eyali omulungi lwondo ate ng’alina ekisa ekitiiriika ng’omubisi gw’enjuki.
Minisita Amelia Kyambadde, sipiika wa Buganda Nelson Kawalya, Ssenseko Kulubya (owookubiri ku kkono) n’abakungu abalala mu kusaba.

 

 
“Maama yalina omutima ogwagala buli mwana era nga kizibu okwawula Abalangira, Abambejja, Bassaava ne ba Nnaava ku baana b’abagalagala kubanga ffenna twazannyiranga wamu,” bwatyo Kigga bwe yategeezezza.
 
Ate Muky. Joyce Mpanga yamwogeddeko ng’omukyala eyakuza abaana b’Engoma n’obuvunaanyizibwa era nga tabakkiriza kweyisa mu ngeri etyoboola ekitiibwa ky’Abalangira n’Abambejja mu Lubiri.
 
Okusaba kuno kwetabiddwaako ebikonge okuva mu Bwakabaka bwa Buganda n’ebweru waabwo. Omumbejja wa Toro Elizabeth Bagaya wamu n’ebikonge okuva mu gavumenti ebyakulembeddwa minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero Amelia Kyambadde.
 
Bajjukidde n’omulangira Richard Bamweyana Walugembe gwe baayogeddeko ng’eyali ekyokulabirako mu Balangira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...