TOP

Balumirizza omusomesa okusala omwana ekitambo

Added 19th September 2018

POLIIISI e Kasasa mu disitulikiti y’e Kyotera yasiitaanye okutaasa omusomesa ku kibinja ky’abooluganda n’abatuuze abaamusikambudde mu kibiina ng’asomesa nga bamulumiriza okusala omwana wa mulamu we ekitambo ky’obusezi bwe yali aleeteddwa okuwummulirako ewaabwe.

 Kizza (asitudde omwana) nga bamulumiriza ku poliisi. Kitaawe y’ali mu kkooti.

Kizza (asitudde omwana) nga bamulumiriza ku poliisi. Kitaawe y’ali mu kkooti.

Phionah Nambejja 14, abadde asoma siniya esooka kigambibwa nti buli kiro abadde atoloka bukunya awaka n’agenda okusera nga bamulaba ku makya ng’akomyewo ajjudde ettaka.

Nambejja mu kiseera kino ali wa Paasita omu e Masaka gye yatwalibwa okusabirwa atereere aveeko ekitambo.

Kigambibwa nti abooluganda babadde bamaze ebbanga nga beegayirira omusomesa Dona Kizza ne bba Kaganda Paulo baggyeko omwana ekitambo kino kyokka nga tebeefiirayo.

Baamulumbye mu ssomero lya Besaniya Church of Uganda P/S e Kimukunda mu ggombolola y’e Kasasa.

Baamusikambudde mu kibiina kya P5 mwe yabadde asomesa. Baatandise okumukuba era poliisi y’e Kasasa ng’ekuliddwa OC Franco Ogibila ye yamutaasizza nga yasoose kukuba masasi mu bbanga okugumbulula abantu olwo ne bamutwalira ku pikipiki.

Omukulu w’essomero, Betty Mugenyi mu kwogerako ne Bukedde yategeezezza nti omusomesa oyo bagenda kusooka bamuwummuzeemu okutuusa ng’ensonga ze ezimwogerwako zigonjoddwa.

Kitaawe w’omwana Kateregga yannyonnyodde nti ebizibu bino omwana we byamutuusibwako bwe yali agenze okuwummulira ewa muganda we Kaganda olwo mukyala we Kizza n’amusala ekitambo.

Ku poliisi, OC Ogibila yatuuzizza enjuyi zombi n’abakulembeze b’ekitundu ne bayita mu nsonga kyokka Kizza ne yeegaana nti talina kye yakola mwana bamuwaayiriza.

Oluvannyuma kitaawe wa Kizza, Vincent Bbaale yayitiddwa n’agamba nti waakutwala muwala we agire ng’abeera naye awaka nga bwe bayiiya okufuna anaavumula omwana era n’akkirizibwa n’agenda naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...